Palamenti ewadde gav't ebiragiro ku bbeeyi y'amasannyalaze

By Muwanga Kakooza

PALAMENTI eragidde gavumenti okuddamu okwekenenya endagaano ze yakola n’amakkampuni agakola n’okutunda amasanyalaze kiyambe okukendeeza ebbeeyi yago n’ensimbi ezisabwa bakasitoma abaagala okweyunga ku layini z’amasanyalaze.

Yaka 350x210

Ababaka era bazudde nti amakkampuni ago gakola amasanyalaze mangi okusinga ku Bannayuganda  ge beetaaga  nga  kino kiyinza okuba nga kye kivuddeko ebbeeyi yago okuba waggulu kuba ensimbi ze gasaamu okugakola Bannayuganda be bazisasulira .

Mu ngeri eno ababaka bawadde amagezi kkampuni ezikola amasanyalaze okuva mu mafuta ga  dizero okuli eya Electromax ne Jacobsen ziggalwewo kuba gavumenti ezisasanyizaako obuwumbi 68 buli mwaka kyokka nga ne bwe zitabaawo amasanyalaze agaliwo gaba gamala.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’ensimbi za gavumenti (PAC) eyavudde mu kwekekenya (lipooti) y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti ekwata ku minisitule y’ebyamasanyalaze.

Mu lipooti ababaka beemulugunyizza ku kya Pulezidenti Museveni okuwa ebiragiro ebyavaako kkampuni ya M/S Sino Hydro corparation  okuweebwa omulimu gw’okuzimba ebbibiro ly’amasanyalaze e Karuma n’eya China International water and Electrical company okuwebwa omulimu gw’okuzimba eddala e Isimba mu Busoga.

Basabye Pulezidenti akomye okweyingiza mu mirimu gy’ebitongole bya gavumenti nga bagamba nti olumu kivaako Uganda okufirizibwa mu by’ensimbi. 

Eky’okuwa kkampuni ya M/S Sino Hydrocorparation omulimu gw’okukola ebibiro ly’amasanyalaze ababaka n’ofiisi y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti balumiriza nti kulimu ebituli ebiyinza okuba nga birina engeri gye  byafiriza Uganda ensimbi.

Bazzeemu okuwa amagezi ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasanyalaze ekya ‘Uganda Electricity distribution Company Ltd’ okusazaamu endagaano gye kyakola ne UMEME ey’okuguza Bannayuganda amasanyalaze. Era ne basaba gavumenti okwongera amaanyi mu ntegeka z’okubunyisa amasanyalaze  mu ggwanga okugakozesa kweyongere mu ggwanga.