Kayihura ayanukudde ku lipoota y'okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Ab’akakiiko baamubuuzizza ku bintu bingi byonna naabyanukula ng’agalaga nti talina kakwate konna ku butemu bwe banoonyerezaako.

Kale5703422 350x210

KAYIHURA BYE YAZEEMU MU LIPOOTI;

Wabula awaasinze okubeewunyisa y’engeri gye yayanukudde ku by’omusaayi omukuumi wa Baroza, Judas Tadeo Opendi gwe yali ayoola.

Bwe yabadde addamu mu kakiiko akabuuliriza, yagambye nti omusaayi gwa Kaweesi kituufu baaguyoola ne bamusaba olukusa okugutwala ewa Sheikh omu e Mombasa asobola okukozesa omusaayi okuzuula abatemu.

Lipooti eraga nti, Kayihura yagaana okubawa olukusa okutwala omusaayi ewa Sheikh n’abagamba nti basobola okuzuula abatemu nga bakozesezza amakubo ga saayansi waabwe mu kunoonyereza .

Amateeka tegakkiriza mu bya busamize, okutwala omusaayi ewa Sheikh anoonye abatemu ng’ayita mu musaayi, kyali kitegeeza kweraguza Kayihura kye yagaana.

N’abalala eby’okutta Kaweesi baabyegaanyi. Ebirala bisange mu Bukedde w’enkya.