Akulira poliisi y’e Bulenga bamuyimirizza ku mulimu

By Musasi wa Bukedde

POLIISI ewandiikidde ASP Lilian Birabwa, abadde akulira poliisi y’e Bulenga ebbaluwa ng’emuyimiriza ku mulimu okumala ebbanga eritali ggere.

Yimi 350x210

Ebbaluwa eyawandiikibwa ku Ssande nga September 9, 2018 yamuweereddwa ku Lwokuna luno nga wayise omwezi mulamba n’omusobyo.

Kino kitegeeza nti yawandiikibwa enkeera oluvannyuma lwa Muhammad Kirumira okuttibwa e Bulenga.

Ebbaluwa yawandiikiddwa AIGP Moses Balimwoyo, avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi mu poliisi.

Ebbaluwa eno era eraga nti ASP John Byamugisha abadde e Ntebe ye yasindikiddwa e Bulenga mu kifo ASP Lilian Birabwa mw’abadde.

We battira Kirumira, Birabwa ye yali akulira poliisi y’e Bulenga era pulezidenti Museveni bwe yamubuuza ebyaliwo n’ategeeza nti amawulire g’okutemulwa kwa Kirumira baagafuna wayiseewo eddakiika ttaano kubanga baali tebasobola kuwulira masasi olwa poliisi okubeera okumpi n’ekkanisa y’abalokole abaali baleekaana mu kiseera ekyo.

Museveni bwe yali ayogera eri eggwanga oluvannyuma lwa Kirumira okutemulwa n’omuwala Resty Naalinya Mbabazi, yategeeza nti yasonyiwa ASP Lilian Birabwa.

ASP Birabwa agenze okuyimirizibwa nga yaakamala e Bulenga emyezi etaano. Abatuuze bagamba nti abayambye nnyo mu kulwanyisa obubbi. Ensonga lwaki Birabwa ayimiriziddwa teyalambikiddwa mu bbaluwa.

Kyokka ensonda zitutegeezezza nti okuyimiriza Birabwa kulina akakwate ku bya Muhammad Kirumira kubanga ebbaluwa yawandiikibwa nkeera woolwo Kirumira lwe yattirwa. Era nti okulwawo okumuwa ebbaluwa lwakuba Pulezidenti Museveni yali ategeezezza nti amusonyiye kubanga yali ayagala avunaanibwe.

Okuva Kirumira lwe yattibwa, wabaddewo okukyusa abaserikale era abamu bakyali ku katebe.