Omubaka Kasibante akaayukidde Katuntu mu kakiiko ka Palamenti

By Kizito Musoke

OMUBAKA Moses Kasibante alidde matereke ne mubaka munne Abdu Katuntu mu kakiiko akanoonyereza ku bbanka ezaggalwa.

Kasibante 350x210

OMUBAKA Moses Kasibante alidde matereke ne mubaka munne Abdu Katuntu mu kakiiko akanoonyereza ku bbanka ezaggalwa.

Kasibante owa Lubaga North awakanya eby’okwongezaayo ekisanja ky’akakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE akakubirizibwa Katuntu (Bugweri).

Katuntu bwe yabadde aggulawo olukiiko eggulo yasoose kutangaaza ku biyitihhana nti yeeremezza ku bwassentebe bw’akakiiko.

Yasomedde ababaka etteeka erya 157 (8) erifuga eby’okuteesa eriragira nampala w’oludda oluvuganya Gavumenti okuleeta amannya g’aba alonze ku kakiiko konna ewa Sipiika n’aganjula mu lukiiko olwawamu nga palamenti etudde.

Mu kiseera kino nga tewali linnya lyali lisomeddwa mu Palamenti, Katuntu yategeezezza nti kibeera kikyamu abantu okutandika okukubaganya ebirowoozo ku ssentebe oba omumyuka wa ssentebe owa COSASE.

Kasibante eyasoose okusirika yayambalidde Katuntu n’amusaba atangaaze oba eky’okwongezaayo ekisanja kya COSASE kiri mu mateeka.

Katuntu yamwanukudde n’ategeeza nti ensonga eyo ejja kukolebwako Sipiika wa Palamenti kennyini kuba eri mu buyinza bwe.

“Nze sifiirawo okubeera ssentebe w’akakiiko. Ofiisi ngirimu n’omumyuka wange olw’amateeka agatufuga, era ssinga Sipiika atugamba tugiweeyo tujja kukikola mu mirembe,” Katuntu bwe yagambye.

Kyokka Kasibante teyamatidde n’ayongera okumuteeka ku nninga nti, “Sipiika yatutegeeza dda nti ggwe wamusaba okwongezaayo ekiseera ky’akakiiko. Ekisinga obukulu kakasa oba ddala akakiiko tekagenda kukola kusukka January 13, 2019?”.

Katuntu yeegaanyi eky’okusaba Kadaga okwongezaayo ekiseera ky’akakiiko n’ategeeza nti yamusisinkana okumubuulira okunoonyereza we kwali kutuuse.

Sipiika yamubuuza oba nga banaaba bamalirizza okunoonyereza ekisanja kyabwe we kinaggweerako n’amugamba nti tekijja kusoboka.

Wano Kadaga we yasinziira n’ategeeza nti agenda kusisinkana abakulira oludda oluvuganya balabe eky’okukola.

Oluvannyuma ng’akakiiko kamaze okutuula, Katuntu yasambazze ebibadde byogerwa nti okunoonyereza kw’azze akola abadde tafulumya lipooti n’agamba nti zonna yazifulumya.

“Njagala kitegeerekeke nti nafulumya lipooti zonna okuli eya UNRA, National Forestry Authority, UBC, National Housing Corporation n’eyobuwumbi omukaaga ezaagabibwa ng’akasiimo ku musango gw’amafuta. Lipooti zonna zaakubaganyizibwako ebirowoozo mu Palamenti”, bwe yagambye.

Okusika okumuwa kwajjawo oluvannyuma lwa Kadaga okutegeeza ng’akakiiko ka COSASE bwe kalina okuweebwa obudde obumala okutuuka nga February 20, 2019 bamale okufulumya lipooti ku bya bbanka ezaggalwa.

Kyokka abakulira oludda oluvuganya Gavumenti kino bakiwakanya nga bagamba nti Katuntu alina okuwaayo entebe eri Mubarak Munyagwa (Kawempe South) obutasukka January 13, ekisanja lwe kiggwayo.

Moses Kasibante gwe baalonda ku bumyuka bwassentebe ng’adda mu bigere bya Annet Anita Among (mukazi/Bukedea).

Bazudde ebirala ku Bbanka Enkulu Eggulo, abakungu ba Bbanka Enkulu baalagiddwa okunnyonnyola kwe baasinziira okusasula bannamateeka ba MMAKS Advocates ssente ezikunukkiriza mu kawumbi okubawolereza ku musango ogwabawawaabirwa aba Crane Bank.

Margaret Kaggwa Kasule akulira eby’amateeka mu Bbanka Enkulu yalemeddwa okuleeta ebiwandiiko ebiraga obuvunaanyizibwa obwali buweereddwa bannamateeka awamu n’engeri gye baabayambamu.

Yategeezezza ababaka nti mu kiseera ekyo baatuuzanga enkiiko nnyingi nnyo nga kyali kizibu okuwandiikanga bye baateesanga, era talina biwandiiko bye bamusaba.

Ekyewuunyisizza ababaka ye bbaluwa eyawandiikibwa Justine Bagyenda eyali akulira eby’okulondoola bbanka z’ebyobusuubuzi nga November 30, 2016 ng’eyanjulira Gavana Mutebile kkampuni ya bannamateeka eya MMAKS era ng’emusaba akkirize okubasasula ddoola za America 251,000 mu za Uganda bwe bukadde 914.

Mutebile yakkiriza okusasula MMAKS wadde nga yali tategedde mulimu gwe bakoze.