Gavt. ekkirizza ensobi ezaakolebwa mu kukyusa emyaka gya Pulezidenti

By Musasi wa Bukedde

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti, William Byaruhanga akkirizza nti, okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kyakolebwa mu bukyamu wabula n’asaba bisigale nga bwe biri mu nsobi eyo.

Tata 350x210

BYA MARGRET ZALWANGO

Byaruhanga yagambye nti, ensobi nnyingi ezaakolebwa mu bintu ebitali bimu olwo n’akkiriza nti byali tebisaanye kukolebwa nga bwe byakolebwa.

Yabadde mu kkooti Ensukkulumu e Kololo mu maaso g’abalamuzi omusanvu abawulira okujulira okwatekebwamu enjuyi ssatu nga ziwakanya ensala ya kkooti Etaputa Ssemateeka.

Kkooti eno yali esazeewo nti okuggya ekkomo mu myaka gya Pulezidenti tekulina buzibu bwonna.

Oludda lwa Gavumenti lwabadde luwa kkooti ensonga zaalwo kwe basinziira okugamba nti, etteeka lyakolebwa mu butuufu nga n’emitendera baagigoberera kyokka ate Byaruhanga yeekubye endobo n’akkirizia nti kituufu emitendera mingi egyabuukibwa Palamenti bwe yali ekola etteeka ssaako ne Pulezidenti okulissaako omukono.

Yadde yafubye okuwolereza etteeka lino, abalamuzi abaakulembeddwa Ssaabalamuzi Bart Katureebe baamutadde ku nninga annyonnyole kkooti oba ddala baagoberera amateeka n’emitendera emituufu.

Byaruhanga eyabadde atandise ensonga ze nga mugumu yatandise okusikatHajj. Ssebunnya tiramu n’okutegeeza nti, wadde waaliwo ensobi ne vvulugu mu kuyisa etteeka lino, lisagala ddungi era n’asaba balireke nga bwe liri.

Yayongedde n’ategeeza abalamuzi nti wadde ebbago lyatwalibwa ewa Pulezidenti n’alissaako omukono nga waliwo ebibulamu, ye (Byaruhanga ) takirabamu buzibu bwonna.

Byaruhanga yawagiddwa omumyuka we Mwesigwa Rukutana naye yategeezezza abalamuzi nti, etteeka lino tewali bwe lityoboola Ssemateeka wa 1995 ng’abaajulira bwe bagamba n’ayongerako nti kkooti eyasooka terina nsobi yonna gye yakola bwe yali ewa ensala yaayo mu musango guno ogwakazibwako erya 'Togikwatako'.

Rukutana yategeezezza nti ababaka bonna baaweebwa obudde obumala ne bagenda ne beebuuza ku bantu mu bitundu byabwe ku nsonga eno nga n’ebbaluwa ya poliisi eyawandiikibwa ASP Asuman Mugyeni ng’ebagaana okukuba enkuhhaana bangi ku babaka baagityoboola.

Yayangeddeko nti n’ebbaluwa Sipiika gye yawandiikira Pulezidenti ng’abuuza engeri amagye gye gaayingira Palamenti yakikola mu bukyamu kubanga yandibadde abeebuzaako nga ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Oludda lwa Gavumenti lwakiikiriddwa Byaruhanga, Rukutana, omuwabuzi wa Gavumenti ku mateeka Francis Atoke, Christine Kahwa, Martin Mwangusaha ne Phillip Muwakanya nga bonna baasabye kkooti ereke etteeka nga bwe liri waleme kubaawo kkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Bano bategeezezza abalamuzi nti tewali nsobi yakolebwa mu kukyusa akawayiro 102(b) era okukakyusa tewali kusobya mu ssemateeka w’eggwanga n’enkola ya Ssemateeka, emitenderwa gyagobererwa bulungi, era byonna byakolebwa lwa bulungi bwa ggwanga lino.

Lukwago ne banne beegayiridde kkooti esazeemu etteeka lino kubanga ensonga za Gavumenti ze yawadde teziriimu ggumba.

Katureebe n’abalamuzi abalala baategezezza nti essaawa yonna baakuwa ensala yaabwe.