Ebyambalo ku mukolo gwa Rema byamazeewo obukadde 200!

By Martin Ndijjo

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka mu nkola emisono gy’engoye.

Yambala 350x210

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka mu nkola emisono gy’engoye.

Mu bimu ku byasinze okucamula abantu z’engoye ez’omulembe ze yayambadde era ono yakyusizza emirundi etaano.

Kentalo owa Talo Couture Collection yagambye nti engoye Rema ze yayambadde mu kwanjula e Nabbingo, ze yayambala mu kukyala ewa Ssenga ne ku kabaga ka ‘Introduction Shower’ mikwano gye ke gyamukolera nga gimusiibula mu butongole, zonna zaali mu nteekateeka y’emu era nga omugatte okwambala Rema yasaasaanyizza obukadde nga 200.

Yagambye nti obutaala bwokka obwateereddwa mu kiteeteeyi kye yafulumiddemu ng’aleeta’kabbo ka muwala’ yabusaasaanyirizzaako obukadde 12.

“Nga ttiimu okuli n’omugole tubadde tutuula ne tukubaganya ebirowoozo okulaba nga tuvaayo n’emisono emirungi egiyinza okulabisa omugole waffe nga wanjawulo era owebbeeyi.

Abamu twalinnya n’ennyonyi ne tugenda naye emitala w’amayanja gye twaggye ‘matiiriyo’ mwe twatunze engoye ze yayambadde.”

Kentalo yategeezezza nti emisono gya Rema yagiggye mu nsi ez’enjawulo okuli; America, Yitale, Trkey, Pakistan n’awalala.