Hamza ne Rema baalaze kiraasi etabangawo: Laba obubadde bwe baatadde ku mukolo gwabwe ekyagufudde ogwenjawulo

By Martin Ndijjo

BULI eyabadde atuuka mu kifo omukolo gwa Rema ne Hamza ng’alabirawo ssente ezaayiiriddwaamu n’obutetenkanya. Baatimbye langi enjeru, enzirugavu, siriva ne zzaabu.

See1 350x210

ENNYAMBALA Y’ABAGOLE

Abagole baakyusizza emirundi ena era nga buli lwe bazzaayo olabira ddala nga be bagole.

 ema ngaboobedde mu gomesi enjeru nekitambaale ekya kiragala Rema ng’aboobedde mu gomesi enjeru n’ekitambaale ekya kiragala.

 

Omulundi ogwasoose, Rema yayambadde gomesi enjeru n’ekitambaala ekya kiragala olwo Hamza n’ayambala ekkanzu y’omuleera ogwabaddemu kiragala n’ekkooti y’ekivubuka (braizer) eya kiragala ng’eriko ne bbaasikooti.

Olwo entalabuuzi eyabadde enzirugavu yabaddeko ekimuli ekya siriva ekyabadde kifaanagana n’ekimuli ekyabadde kitobekeddwa mu kitambaala kya Rema.

Ku mulundi ogwokubiri, ekkanzu ya Hamza yabadde n’omuleera ogwa ppinki ow’amazzi n’ekkooti eya zzaabu ow’amazzi n’ekimuli ekya zzaabu.

Bino byakwataganye bulungi ne gomesi ya Rema eyabadde eyakaayakana mu siriva.

Gomesi n’ekitambaala byabadde bifaanagana wabula nga ku kitambaala baatungiddeko langi eya ppinki ow’amazzi.

Omulundi ogwokusatu baayambadde Kinigeria mu langi eya bbulu.

Rema yayambaliddeko enkoofi ira ekoleddwa ng’ekitambaala.

Wansi baatungiddeyo akatimba akawanvu.

Eby’omu bulago byalukiddwa na ngalo ssaako akakoofi ira Hamza ke yayambadde.

Kuno Rema yakwatiddeko ekyoya ekiwujja empewo ekya langi enjeru ng’ekwatagana n’eby’omu bulago n’ebikomo.

Omulundi ogwasembyeyo, Rema yayambadde ekiteeteeyi ekigazi ekyabadde kyakaayakana mu langi eya kakobe ow’amazzi.

Hamza yayambadde kakobe ne langi enzirugavu.

 ano nga bakyusizza omulundi ogwokubiri Wano nga bakyusizza omulundi ogwokubiri.

 

EBYENJAWULO KU NGOYE ZE YAYAMBADDE

Kentalo yagambye nti okwambala kiragala n’enjeru nga ku mutwe bamutaddeko akatimba baakikoze okuggyaayo ekitiibwa ky’omugole .

Ku gomesi eyookubiri eyabadde eyakaayakana, baagitungiddeko akatimba akatangalijja ku mikono mu kifuba ne wansi okugifuula ey’enjawulo.

Ekyambalo ky’ekinigeria baakiggya bweru, olwo dizayina amanyiddwa nga Abas eyayambazza Hamza n’emperekeze n’akyongeramu ebirungo.

Ate ekiteeteeyi kye yasambye okwambala nga kyaka obutaala, Kentalo agamba nti wadde kyacamudde bangi, naye ogwo omusono guluddewo lwakuba baagwongeddemu ebirungo okuguzzaa obuggya n’okutuukana n’omulembe.

Obutaala buno nga bulina eppeesa ly’onyiga ne bwaka, bwagulibwa bwokka e Turkey, wabula bwe bwalema okukola kyennyini kye baali baagala, oluvannyuma baabutwala e Yitale okubwongeramu olwo ne bulabika nga bwe baali baagala.

 byambalo bye baasookeddemu Ebyambalo bye baasookeddemu.

 

BAAYIIYIZZA

Christine Kisakye omukugu mu by’emisono ng’akolera mu Kampala yagambye nti eyayambazza abagole yakoze okunoonyereza okw’amaanyi n’okuyiiya okulaba nga baba banjawulo ddala.

“ Okugeza yatututte e Nigeria n’atulaga ennyambala yaayo ey’obuwangwa naye obutayagala ate kulabika ng’Abanigeria, n’agattako ekikweya nga kiwanvu ddala ekyayongedde okulufuula olw’omugole.

Ekirala langi zaabwe naddala enjeru ne kiragala zaakwataganye ne langi z’eddiini y’Ekisiraamu entongole.

Enviiri za Rema zaabadde za kigero emisono gye yakoze tegyabadde gya bulijjo era zaayerudde bulungi ekyenyi n’anyuma.