Omugagga Sudhir agguddewo ekizimbe ekipya Abapangisa ne bamuwanjagira ku z'obupangisa

By Joseph Makumbi

Omugagga Sudhir agguddewo ekizimbe ekipya Abapangisa ne bamuwanjagira ku z'obupangisa

Kiz1 350x210

ABASUUBUZI mu Kampala basiimye nagagga Sudhir Rupaleria okubawa omukisa ku kizimbekye ekipya okusasula ssente z'obupangisa mu ssente za Uganda.

Enkya ya leero, Sudhir, mukyalawe n'abaanabe bagguddewo ekizimbe ekipya ekyatuumiddwa Crane Plaza e Nakasero abapangisa abaakutte amaduuka ku kizimbe kino gye baakung'aanidde ne batuusa eddoboozi lyabwe eri ladiroodi waabwe.

Sudhir abategeezezza nti kino ky'ekizimbe ekisoose mu Uganda okugenda okubeera amaduuka agatunda buli kintu ng'omuntu bw'ayingira avaamu aguze buli kimu kye yetaaga. Agambye nti obutafaananako bizimbe bye ebirala, ku kino abantu bagenda kusasula mu ssente za Uganda baleme okukalubirizibwa olwa ddoola erinnya buli kiseera.

Sudhir agambye nti abapangisa abawadde omukisa gwa myaka ebiri nga tabongeza ssente za bupangisa era endag'aano ze bagenda okuteekako emikono nga bafuna amaduuka, zigenda kubeerako ssente nga tezongezeddwamu wadde ekikumi.

Ekizimbe kino ekiriko amaduuka 281 n'ebifo ebipangisibwa okuteekamu ofiisi ne woteeri 66 era kirina paakingi waggulu ya mmotoka 190. Sudhir abagambye nti bagenda kusasula ssente za paakingi ddoola 50 okumala emyaka ebiri egisooka ate oluvannyuma bajja kudda ku ddoola 60 buli mwezi