Kitalo ! Gwe bakwatidde mu bwenzi yegasse n'omusiguze ne basanyaawo bba-

By Musasi wa Bukedde

Kitalo ! Gwe bakwatidde mu bwenzi yegasse n'omusiguze ne basanyaawo bba-

Ta1 350x210

BULIJJO abadde awulira olugambo nti mukyala we alina omuvubuka amubojjerera era nga ne ku mulimu gwe ogw’obuzimbi, bappoota (abaweereza) batera okumukuba olwali nti, “Musiraamu, eddiini yo ekkiriza abasajja okuwasa abakyala abana kyokka ggwe tukwewuunya!

N’okkiriza okuvuganya ku mukazi owuwo!” Ibrahim Kayanja, 35, ow’e Ndese mu ssaza ly’e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono, eby’olwali yabissa ku bbali n’abuuza mukyala we, Siifa Namutebi, oba bye bamugamba nti omuvubuka Dan Ssempeebwa ‘muntu we’ bituufu!

Wano Siifa yeegaana nga bwe yeekunkumula n’atiisatiisa n’okunoba olw’omwami obutamwesiga n’amulowooleza okuganza obulenzirenzi! Gye biggweeredde, ng’olugambo lufuuse amazima, Kayanja bwe yattiddwa mu bukambwe oluvannyuma lw’okuliimisa Siifa ne Ssempeebwa n’abakwatira mu muzigo kyokka mu kwerwanako ne bamutuga.

Abatuuze ku kyalo Ndese baaguddemu encukwe, mutuuze munnaabwe bwe yawondedde mukyala we oluvannyuma lw’omutemyako nti ali n’omusiguze mu muzigo, kyokka ne bamwefuulira ne bamukuba n’oluvannyuma ne bamutuga n’afa.

Bino byabaddewo ku Mmande ekiro, Kayanja bwe yasanze mukyala we Siifa n’omuvubuka Ssempeebwa mu muzigo gw’omukazi amanyiddwa nga ‘Naaki’ (mwannyina Ssempeebwa) n’agezaako okubalwanyisa, ne bamutuga omulambo ne bagusuula mu luggya.

 OWA LC ATTOTTOLA: Ssentebe w’ekyalo Ndese, Musa Saddam Ssenteza, yagambye nti Kayanja yavudde ku mulimu ku ssaawa nga 2:30 ez’ekiro n’abuuza abaana nnyaabwe gye yabadde. Baamuzzeemu nti, “Agenze wa Aunt Naaki” naye kwe kuwondera.

Kigambibwa nti olwatuuse ewa Aunt Naaki, yasanze bonsatule (Siifa, Ssempeebwa ne Aunt Naaki) bali mu nnyumba era yayingidde butereevu n’abuuza Siifa nti, “Okola ki wano? Bulijjo weegaana nti oyagala omuvubuka ono nga weegaana ng’olowooza siikukwate?” Wano nti Siifa we yamubuulizza nti, “Otusanze tukola ki?

Nze nzize kulaba ku mukwano gwange mulwadde? Eh maama, n’abalwadde okubalaba tunaamalanga kugenda ku kizindaalo kweranga?” Kigambibwa nti bino byayongedde okunyiiza Kayanja n’alagira Siifa amuyiteko mu bwangu nga n’empi kw’atadde. Okukubira Siifa ewaabwe nti nakyo kyasiikudde Ssempeebwa emmeeme n’alagira Kayanja aleme kulwanira wa mwannyina kyokka nga tabiwulira n’ekyaddiridde kukwatagana naye ne beeriga.

Mu lutalo luno,essimu ya Kayanja we yagwiridde wansi n’ayagala agirondewo nga wano Ssempeebwa we yamukwatidde mu bulago ng’ali wamu ne Siifa ne bamunyiga emimiro n’abulwako w’assiza n’afa.

Omulambo baagulese gugudumadde mu luggya Siifa n’adduka ng’adda eka ne Ssempeebwa n’asigala ku kyalo nga yeekaaliisa era ng’agamba nti tayinza kudduka kuba okumusanga n’omukazi ewa mwannyina si musango!

 POLIISI KY’EGAMBA: Akulira poliisi y’e Naggalama, Boniface Kinyera, yagambye nti omu ku batangira obumenyi bw’amateeka (crime preventor) e Ndese ye yabakubidde essimu ku butemu buno bwe baatuuse ku kyalo ne basanga ng’omukazi (Siifa) agezaako okudduka n’abaana be ababiri b’abadde alina mu Kayanja.

Yagasseeko nti nga yaakakwatibwa, Siifa yeegaanyi okutta bba ng’alumiriza Ssempeebwa nti ye yasse. Baatutte omulambo mu ggwanika ly’eddwaaliro e Kayunga kyokka nga bakomawo, abatuuze e Ndese baabakubidde essimu ne babategeeza nga Ssempeebwa bw’akyali ku kyalo. Awo we baddiddeyo ne bamukwata nga kati ye ne Siifa bali ku poliisi y’e Naggalama.

SSEMPEEBWA ABADDE YEEWAANA Omu ku batuuze, ataayagadde kumwatuukiriza mannya, yagambye nti Ssempeebwa aludde ng’apepeya ne Siifa nga n’olumu baagwako ku kabenje ka bodaboda nga bagenda okucakala eNakifuma ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Yayongeddeko nti baawulirako nti Ssempeebwa abadde yeewaana nga bwe yattako omulaalo ng’agaanyi okumuwa 20,000/- n’akasawo ke yalina mu ngalo n’okwewaana nti byonna ebyo wadde yabikola, poliisi terina kye yamukola.

KAYANJA AZIIKIDDWA Olw’okuba omugenzi abadde Musiraamu, poliisi yakkirizza okumuziika era abatuuze baatutte omulambo gwe e Kaseenene mu disitulikiti y’e Luweero gye gwaziikiddwa eggulo. Alese bannamwandu babiri okuli Siifa ne Zainabu Nakalanzi ng’ono naye yamulese mu muzigo. Alese abaana musanvu ng’ababiri yabazaala mu Siifa.