Abuuzizza Jjajjaawe lwafa nga tamanyi n'amutemaatema

By Musasi wa Bukedde

Abuuzizza Jjajjaawe lwafa nga tamanyi n'amutemaatema

Ja1 350x210

OMUVUBUKA atemyetemye jjajjaawe ow’emyaka 80 lwa kibanja abatuuze ne bamulumba naye ne bamutema okugulu poliisi ye Buwama nemutaasa.

 Fred Ssentume myaka 19 yavudde mu mbeera n'atemaatema Jjajjaawe Maria Nakafeero 80 omutuuze we Buwere mu gombolola ye Buwama mu Mpigi ng’entabwe eva ku kumusaba kibanja n'agaana okukimuwa kyokka Nakafeero bwakubye enduulu abatuuze ne bajja okumuduukirira nabo basazeewo kutwalira mateeka mu ngalo ne batemako Ssentume okugulu poliisi ye Buwema nga ekulembeddwamu Ben Igama yemutaasizza.

 Ssentumu okutema Jjajjaawe kyaddiridde okukayanira ekibanja kwabadde yamuwaako ekitundu ng’ayagala kukyezza kyonna ng’agamba nti kyali kya kitaawe Gligory Ssentamu eyakimulekera nga akyali muto kyokka kati jjajjaawe anaatera okufa nga tanakimuwa mu buwandiike.

 Abatuuze bategeezeza nti Ssentume akozesa nyo ebilagalalagala nti kyekimuviiriddeko okuitema Jjajjaawe era ne bawera nti bwebaddamu okuddamu okumulaba ku kyalo kyabwe bagenda kumwekolerako.

 Nze nakuza omwana ono nze namukuza okuva nga muwere nga kitaawe afudde kyokka okuva lwennamuwa ku kibanja kyange ekitundu nakizimbako akayumba yantabukira natuuka n'okungamba nga bwenduddewo okufa kwekusalawo okuntematema anzite akyezze kyonna bwatyo namukadde Nakafeero bwayogedde ku kitanda eNkozi gyapookyeza nebisago byejambiya muzzukuluwe zeyamutemyetemye.

Poliisi ye Buwama ekutte SSentume nemutwala mu ddwaliro eButabika gyajanjabirwa n’okwekebejjebwa omutwe oba nga guliko ekikyamu oluvanyuma bamugguleko omusango.