Museveni ayise Kiyingi ne Lubyayi bateese

By Musasi wa Bukedde

Museveni ayise Kiyingi ne Lubyayi bateese

Ki1 350x210

PULEZIDENTI Museveni ayise omubaka wa Mawokota South, John Bosco Lubyayi ne munne Kenneth Kiyingi Bbosa abadde omubaka w’ekitundu kino abatabaganye oluvannyuma lwa Kiyingi okutwala Lubyayi mu kkooti enkulu ng’amulumiriza okubba obululu n’okugulirira abalonzi.

Okuyingira kwa Pulezidenti mu nsonga zino kwawalirizza omulamuzi wa kkooti enkulu ey’e Mubende ali mu musango guno, Joseph Mulangira okuyimiriza okuwulira omusango guno okutuusa nga bavudde ewa Pulezidenti.

Lubyayi yasabye omulamuzi nti leero ku Lwokusatu ku ssaawa 5:00 ez’emisana bagenda kusisinkana Pulezidenti nga ssentebe w’ekibiina abatabaganye, omusango guleme kugenda mu maaso.

Eggulo ku Lwokubiri omulamuzi Mulangira yayise Kiyingi Bbosa ne balooya be okuli Ambrose Tebyasa ne Ronald Nsubuga n’alagira ne Lubyayi ajje ne looya we Enock Barata ne bakkaanya ku kusaba kwa Lubyayi okusooka okusisinkana Museveni leero.

Kyokka Pulezidenti bw’anaayogera nabo ne balemwa okukkaanya, baakuddayo mu kkooti battunke.

Omulamuzi Mulangira bweyatusse mu kkooti yagambye nti omuwaabi n’omuwaawabirwa abawadde omukisa bagende bakkaanye wabweru wa kkooti, bwe kigaana ku Lwokuna nga May 26, 2016 bakomewo mu kkooti omusango gutandike okuwulirwa