Saagala Bwapulezidenti - Maj. Gen. Muhoozi

By Joseph Mutebi

OMUDUUMIZI w’eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC), Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo n’ayogera ku bigambo ebizze biyiting'ana ku ngeri gy’azze akuzibwamu mu magye nti bakikola kuddira kitaawe Pulezidenti Museveni mu bigere ku Bwapulezidenti.

Gwanya 350x210

Muhoozi abadde ne mukyalawe, Sharot Nankunda Muhoozi ku mukolo gw’okumwambaza amayinja g’obwa Maj. Genero ku kitebe ky’amagye e Mbuya, ategeezezza nti okukuzibwa kwe mu magye okuva mu 2000, lwe yafuna eddaala lya Sec. Lieutenant, kizze kikolebwa kuyita mu mitendera gy’amagye.

“Amadaala ge nfuna si nze ngeewa, gayita mu kakiiko akagaba ‘ranka’ abantu bonna mu magye mwe bayita okukuzibwa.” Muhoozi bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti omuntu ayagala okwesimbawo ku kifo ky’obukulembeze kyonna ky’alina okukola nga naye mw’ali wabula n’agamba nti talina kigendererwa kya kwesimbawo ku Bwapulezidenti nga bwe bizze byogerwa.

Ono eyabadde anekaanekanye mu kyambalo ky’amagye eky’emikolo, yaggyiddwaako ennyota za Brigadier, omuduumizi w’eggye lya UPDF Gen. Edward Katumba Wamala eyabadde omugenyi omukulu ng’ayambibwako mukyalawe Sharot ne bamwambaza ennyota z’obwa Maj. Genero.