Ebyobulimi byongeddwa ssente

By Musasi wa Bukedde

Ebyobulimi byongeddwa ssente

Kas1 350x210

GAVUMENTI eyongedde ensimbi mu byobulimi bw’etaddemu obuwumbi 823 n’obukadde 420 okuva ku buwumbi 479 n’obukadde 960 ze yateekamu omwaka oguwedde.

Embalirira eyongedde okulaga ng’abantu abalya ku bulimi obutereevu bwe beeyongedde nga mu kubala abantu n’amayumba okwa 2014 kwalaga nti amaka agayimirirawo ku bulimi gaalinnya okuva ku 68 okudda ku 69 ku buli 100.

Wabula bano okusinga babeerawo ku kulima mmere ya kulya sso si kukolamu nsimbi. Kyokka wakyaliwo obuzibu mu bulimi, kuba abalimi bafuna amakungula matono ddala nga kino kiva ku butamanya kukozesa ttaka, okuba nga bakyali ku nnima ey’akasimo ne batakozesa tulakita, obutakoesa bigimusa, obutamanya nnima ya mulembe, enkyukakyuka mu mbeera z’obudde n’ensonga endala.

Wabula enkola y’amagye okudda mu bulimi eya Operation Wealth Creation (OWC) eyongeddemu ku mbavu mu bulimi mu kugaba endokwa z’emmwaanyi obukadde 65, ez’amajaani obukadde 48, kalittunsi obukadde 4, okwo gattako n’ensigo ez’omulembe n’ensolo ez’olulyo.

Okusima ebidiba mu bitundu gye bettanira okulunda n’okulwanyisa endwadde nakyo kikoleddwaako. GAVT. BY’EGENDA OKUSSAAKO ESSIRA Okuwa abalimi eddagala ly’ebirime, endokwa ez’omulembe n’ensolo ez’olulyo.

Okwongera okunyweza amateeka ku bisolo, okulwanyisa endwadde mu bisolo n’okuteekawo ebyuma ebisobola okuzuula endwadde zino amangu mu Gavumenti ez’ebitundu ne Gavumenti eya wakati. Okwongera okunoonyereza ku birime.

Okuzimba enkola ezifukirira ebirime mu bitundu eby’enjawulo n’okuteekawo ttanka ezitereka amazzi ag’okufukirira. Okulaba ng’abalimi basobola okukwata obulungi ebirime bye bakungudde ne balemwa okufi irwa, era bajja kuwolebwa ensimbi.

Okuteekawo enkola eyamba abantu ssekinoomu abeenyigira mu bulimi nga bafuna ensimbi enkalu. Okuteekawo enkola abalimi mwe bagendera mu yinsuwa y’ebyobulimi okulaba nga bakendeeza okufi irwa.

Ebisuubirwa okutuukibwako amangu mu byobulimi kuliko, abalimi okwongera ku makungula, okwongera emmere mu maka n’ennyingiza y’abalimi n’okutunda ebintu ebweru. Obungi bw’emmwaanyi busuubirwa okweyongera okuva ku busawo obukadde 3 mu 600 okutuuka ku bukadde 20 mu mwaka 2020.