Mmotoka 50 ziyooleddwa

By Musasi wa Bukedde

Mmotoka 50 ziyooleddwa

Ko1 350x210

POLIISI y’ebidduka e Nateete ekutte mmotoka ezisoba mu 50 mu bikwekweto ku baddereeva abaaweebwa fayini olw’okumenya amateeka agafuga ebidduka ne balemwa okusasula mu nnaku 21 ezibaweebwa.

Ebikwekweto bino byakoleddwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka okumpi ne poliisi y’e Nateete era buli ddereeva eyasangiddwa ng’alina ekipapula kino nga teyasasula ng’emmotoka esikibwa n’etwalibwa ku poliisi.

Kyakulembeddwaamu amyuka akulira poliisi y’ebidduka ku poliisi eno, Abdul Lwumbwe eyagambye nti takisi ze zaasinze okukwatibwa.

Yagasseeko nti baddereeva abamu baasangiddwa ne lisiiti ezisukka mu emu ng’ennaku 21 mwe balina okusasulira zaggwaako dda era bano boolekedde okusasula ssente zino nga kuliko ne fayini ya bitundu 50 ku ssente ze balina okusasula.

Wabula baddereeva b’emmotoka zino okusingira ddala abattakisi bakukkulumidde poliisi y’ebidduka olw’okubaggyako ssente ennyingi eziri wakati wa 50,000/- ne 250,000/-.