Akavamagombe tokabuusa maaso mu kyogero

By Musasi wa Bukedde

Akavamagombe tokabuusa maaso mu kyogero

Buj1 350x210

MU Ankole tukozesa akavamagombe ke tuyita ‘Orisikasikye okujjanjaba endwadde ez’enjawulo. Hajati Hadija Mbabazi, agamba nti akavamagombe kayamba ku bwoka mu baana. Okujjanjaba omwana sima emirandira ogibabuleko ku muliro. Kino kiyamba okweyongera obuka n’okutta obuwuka obubaddeko.

Gisse awantu awayonjo ogisekule oluvannyuma ogattemu amazzi matono ofumbe. Bwe byesera okumala ebbanga obiggya ku muliro.

Omwana muwe nga biwoze. Omwana ow’omwezi ogumu okutuuka kw’esatu muwe akagiiko akatono emirundi ebiri olunaku.

Abakuzeemu okutuuka ku mwaka muwe ekigiiko ekinene. Eddagala lye limu liyamba n’omuntu atawanyizibwa enjoka naye anywa ekitundu ky’eggiraasi. Ku muntu agudde emmeeme noga bikoola obikunye bigonde.

Oluvannyuma bitabule mu mazzi agookya. Eddagala lisuzeewo ekiro kimu enkeera omulwadde atuulemu eddakiika 30 bw’aba muntu mukulu. Ate ku bawala n’abalenzi eddagala olituulamu eddakiika 15 buli lunaku okumala ennaku ssatu.

Omwana asobye oba ‘aw’amakyire’ mu Lunyankole maama w’omwana, asima emirandira, n’agibabulako, oluvannyuma lisekulire mu kinu.

Kamulamu eddagala omuwe akagiiko akatabula caayi akatono kamu omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku ssatu.

Ku mwana ow’akamiro sima emirandira ogyanike ku musana. Bwe gikala gisekule ofunemu ensaano. Eno beera ng’ogisiiga ku bbeere ng’agenda okuyonka. Ate ensaano endala gitabulemu amazzi amafumbe omuweeko mpolampola Akavamagombe, kalungi okugatte mu kyogero, ky’omwana oba eky’ogo ky’omuntu omukulu.