Ebintu bya bukadde bisirikkidde mu muliro

By Musasi wa Bukedde

Ebintu bya bukadde bisirikkidde mu muliro

Kum1 350x210

OMULIRO gukutte ennyumba y’omutuuze Joyce Mboowa e Kkulambiro ne gusaanyaawo ebintu ebibaririrwa mu bukadde omunaana. Omuliro guno ogwabudde ku masannyalaze gwakutte ku ssaawa 4:00 n’ekitundu ez’oku makya nga Mboowa ali mu ffumbiro afumba.

Yakubye enduulu abantu ne bajja ne bagezaako okutaasa ne bayita poliisi y’abazimyamwoto n’eguzikiriza. Ebyayonoonese kuliko fi riigi, engoye, kuuka, ssente enkalu, obuliri, ttivi bbiri, wuufa n’ebirala.

Akulira abazimyamwoto ku poliisi e Bweyogerere, Wilfred Chance yakubirizza aba UMEME okutereeza amasannyalaze gaabwe kuba omuliro gwavudde ku kugayunga bubi.