Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa - Capt. Kironde

By Musasi wa Bukedde

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku ssente z'akasiimo kaabwe

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 350x210

Bya Joanita Nakatte

Enteekateeka y’okuwandiisa n’okunoonyereza ku baazirwanako mu disitulikiti y’e Mukono okulaba nga bafuna akasiimo kaabwe yakomekkerezeddwa ne beebaza Gavumenti olw’okukola ennongoosereza mu nkola eno gye basuubira okuganyulwamu nga bafuna ensimbi zaabwe ze baludde nga batambulira.

Enteekateeka eno yabadde ya nnaku bbiri nga yakoleddwa ku ofiisi y’omubaka wa pulezidenti era ng’abaazirwanako bazze mu bungi okutereeza ebibakwatako n’okuzuula ensonga ebadde ebalemesa okufuna ensimbi zaabwe.

Bano okwabadde abakadde ab’emyaka 70 n’ab’eng’anda z’abagenzi abaazirwanako, baalombozze ennaku gye babadde bayitamu okuli okubatambuzanga enkya n’eggulo nga kw’ogasse n’abamu okugulirira ababawandiisa okulaba nga bayitamu okufuna ssente wabula ng’era bakomekkereza tebafunye.

 uzeeyi oseph ganda yawummula mu 1994 Muzeeyi Joseph Nganda yawummula mu 1994

 

Joseph Nganda 78, yategeezezza nga bw’aludde ng’agoba ku by’akasiimo ke oluvannyuma lw’okulekulira amagye mu 1994 wabula nga n’okutuusa omwaka guno tafunanga wadde ennusu kyokka ng’abamu ku be yalwana nabo bo babadde bafuna ezaabwe.

“Nsuubira nti, enkola eno ey’okutuwandiisa mu kompyuta etabaddeewo egenda kutuyamba naddala abamu ku ffe ababadde batafuna ssente. Embeera yo ebadde etukaluubirira mu nsonga z’ebyensimbi ne tulwala nga tetulina bujjanjabi oluusi n’ekyokulya ne kibula kyokka nga twalwanirira eggwanga lyaffe, tusuubira nti ku mulundi guno tugenda kuyambibwa,” Nganda bwe yagambye.

Abamu ku b’eng’anda z’abaazirwanako baategeezezza ng’abagenzi bwe baabalekera abaana n’obuvunaanyizibwa bw’okulabirira famire zaabwe era nga kibadde kyennyamiza okulaba nga gavumenti yalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo obw’okubayamba nga n’abamu eby'okusoma baabyenenya lwa ssente.

 apt avid ironde ngagumya abaazirwanako okufuna ssente zaabwe Capt. David Kironde ng'agumya abaazirwanako okufuna ssente zaabwe

 

Eyakulembeddemu enteekateeka eno mu Mukono, Capt. David Kironde azizzaamu Bannayuganda essuubi nga ku mulundi guno bwe batasuubira kulekera baazirwanako olw’enkola eno empya eyatandikiddwaawo.

Kironde yattaanyizza ku nkola entuufu abaazirwanako n’ab’eng’anda zaabwe gye bagenda okugoberera okulaba nga bafuna ensimbi okuli okujja n’ebbaluwa eziraga nti ddala baasibulwa mu magye mu butongole, ab’eng’anda okuleeta ebiwandiiko ebiraga nti balina akakwate ku bagenzi.

Yalabudde abadduka obuddusi mu magye n’abo abataasiibulwa obuteetantala kubanga si baakufuna ssente, nga kuno baakugattako n’okunoonyereza kw’abo ababadde bafuna ensimbi zino mu bukyamu.