Mweyambise amagezi ge musomye okukyusa eggwanga

By Musasi wa Bukedde

Bwanamukulu w'e Kabimbiri akubirizza abayizi okukozesa amagezi ge basomye okukyusa eggwanga lwabwe

Seeta51webuse 350x210

Bya Madinah Sebyala

Rev. Fr. Ignatius Kayita nga ye bwanamukulu w'ekigo ky’e Kabimbiri akuutidde abayizi okukozesa amagezi ge basomye basobole okukyusa eggwanga.

Yagambye nti, abayizi basaanye bakulembeze Katonda olwo bagatteko amagezi ge basoma omuli aga tekinologiya, ebyobufuzi, ebyemizannyo n’ebitone ebirala nga bwe beebuuza ku babasingako n’okubalabirako olwo basobole okukyusa embeera y’obulamu bwabwe n’ensi yaabwe esobole okwegombesa ng’ensi endala ze beegomba.

Yayongeddeko nti, bangi bakyusizza ensi yaabwe nga bayita mu bitone, obukulembeze n'awa ekyokurabirako kya minisita Dr. JC Muyingo ayambye okukyusa eggwanga ng’ayita mu byenjigiriza.

 kulira essomero lya eeta igh ukono ampus oniface sebukalu Akulira essomero lya Seeta High Mukono Campus Boniface Ssebukalu

 

 Yabadde ku Seeta High Mukono Campus ku Ssande mu mmisa mwe yasabidde abayizi abagenda okutuula ebigezo by’akamalirizo omuli aba S4, S6 n’aba Seeta Junior School, Mbalala Campus.

Yagambye nti, nga bannaddiini basanyufu kubanga eggwanga likizudde nti teri kikolebwa nga Katonda tomutadde ku mwanjo era yasabidde abayizi nga bw’abawa omukisa basobole okujjukira buli kye bababuuza mu butuufu bwakyo, obutalumbibwa ndwadde mu bigezo, n'okukola obulungi basukkulume ku balala mu ggwanga.

Omukulu w'essomero, Boniface Ssebukalu yagambye nti, ebibuuzo bituuse era basaba Katonda abafuule abaganzi abateekeko omukono ogw’ekisa baganje olwo ebibuuzo babikube butinda era ng’ omwaka guno baasabye Katonda abafuule nnamba emu mu ggwanga.

 Yeebazizza abazadde abababeereddewo naddala mu kutuukiriza ebisaanyizo eri abaana baabwe n'asaba Katonda abawe omukisa n'amaanyi g'okubaweerera okutuusa nga bamalirizza okusoma.