‘Okuwandiisa kkaadi z’ebidduka tekusasulirwa’

By Musasi Wa

OKUKYUSA kkaadi z’ebidduka okuva ku nkadde eziriwo okudda ku za kompyuta empya kwa bwereere.

2012 8largeimg217 aug 2012 160208777 350x210

Bya Samuel Balagadde

OKUKYUSA kkaadi z’ebidduka okuva ku nkadde eziriwo okudda ku za kompyuta empya kwa bwereere.

Mw. Jamil Ssennyonjo  ow’ekitongole ky’omusolo (URA)  akola   ku misolo  gy’omunda mu ggwanga  yagambye nti tewali ssente zijja kusasuzibwa ba bidduka okuva ku pikipiki, mmotoka, amaato oba emmeeri  mu nkola eno empya egenda mu maaso.

Bino yabyogeredde   ku  poliisi ya Kasaawe e  Nsambya ku Mmande,  abakozi ba URA bwe baabadde bannyonnyola abebidduka mu kitundu kino engeri y’okweyambisa  omukutu gwa yintanenti okukyusa kkaadi z’ebidduka.

Wabula Ssennyonjo yagambye nti kino kiri kw’abo bokka abalina kkaadi za mmotoka  nga ziri mu mannya gaabwe, abatakolanga tulansifa  balina okusasula ez’okukyusa amannya mu kkaadi.

Okuyungibwa ku  nkola eno, omuntu ateekwa  okuba  ne TIN nnamba ezitali ezo ezibadde zeeyambisibwa enkadde  ezisooka ne ‘P’.

Bw’oba kkaadi gy’olina teri mu mannya go olina kusooka mu kkooti n’okola ekirayiro n’oluvannyuma olange  mu mpapula z’amawulire  nga bw’eri enkola osobole okugizza mu mannya go.

Ate kkaadi gy’olina bwe kiba nga nnyini yo yafa, olina kuyita mu ofiisi ekola ku bintu by’abafu.

Okuva ku Mmande, aba URA baatandise okutalaaga ebyalo nga basomesa abebidduka ku ngeri y’okweyambisaamu omukutu gwa yintanenti okuwandiisa ebidduka n’okukyusa kkaadi bafune empya.
 

‘Okuwandiisa kkaadi z’ebidduka tekusasulirwa’