Poliisi ekoze obukadde 450 mu ‘kawunyemu’ wa Ssekukkulu

By Musasi wa Bukedde

Engassi eno yasinze kuva mu bikweweto bya "Kawunyemu" ebifuuza abavuga nga batamidde, abavuga nga tebalina biwandiiko, mmotoka z'ebyamaguzi ezaabadde zitisse akabindo, mmotoka ziganyegenya n'emisango emirala.

Kawunyemu1 350x210

POLIISI y'ebidduka mu Kampala n’emiriraano ekung'aanyizza obukadde 450 mu mwezi gwa December mu ngassi eya kagwirawo mu beebidduka.

Bannayuganda we baaberedde mu kulya ssente mu biseera bya Ssekukkulu n'ebijaguzo by'Olusooka omwaka, yo Poliisi ebadde enoonya nsimbi mu beebidduka abamenyi b'amateeka g’oku nguudo.

Engassi eno yasinze kuva mu bikweweto bya "Kawunyemu" ebifuuza abavuga nga batamidde, abavuga nga tebalina biwandiiko, mmotoka z'ebyamaguzi ezaabadde zitisse akabindo, mmotoka ziganyegenya n'emisango emirala.

Dr. Stephen Kasiima, akulira  poliisi y'ebidduka n'okulwanyisa obubenje mu ggwanga yagambye nti ebipapula by'engassi ebyagabiddwa ebisinga byasasuddwa olw'obukwakkulizo obwabadde bussibwa ku baddereeva abaasangiddwa mu nsobi.

"Tubadde tweyambisa ssente nnyingi okulondoola n'okukuhhaanya engassi okuva mu baddereeva ababadde baweebwa ebipapula okusasula mu bbanka wabula ne beesuulirayo gwa nnaggamba okutuusa bwe twayongedde ku bukambwe ng'osooka kusasula mmotoka n'eteebwa," Dr. Kasiima bwe yagambye.

Yagambye nti lipoota ekwata ku bubenje bwonna mu ggwanga mu biseera by'ennaku enkulu esuubirwa okufulimizibwa nga January 15, wabula ng'ebitono ebyakavaayo biraga nti obubenje bwakendedde nnyo okusinziira bwe bubadde okumala ekiseera.

Yagambye nti okussa obukwakulizo eri abavuzi ba bbaasi okubeera ne bbaagi ezibakkiriza okuzivuga n'abaserikale ba ttulafiki abassibwa ku nguudo nga balina ebyuma ebyeyambisa tekinologye omuggya akebera pamiti ez'ebicupuli bye bimu ku byakendeezezza ku bubenje mu biseera by'ennaku enkulu.

"Wadde waabaddewo obubenje bwa bbaasi obutonoto , wabula obusinga ku bino tebwabadde bwa maanyi. Bbaasi twamaze okuzisalira amagezi era baddereeva ne bannannyini zo baamaze okutegeera omugaso gwa bbaasi n'abaserikale be tussa ku nguudo, kati tugenda kudda ku takisi ne bodaboda," Dr. Kasiima bwe yagambye.

Norman Musinga, omuduumizi wa poliisi y'ebidduka mu Kampala n'emiriraano yagambye nti ebikwekweto bya kawunyemu bikyagenda mu maaso nga baddereeva naddala aba takisi ne bodaboda beeyongedde okunywa omwenge gw’omu buveera nga bali ku mulimu.

Winstone Katushabe , omuwandiisi w'ekitongole ekivunaanyibwa ku bidduka mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) yagambye baddeereeva ba bbaasi ne bannannyini zo beeyongedde okugoberera amateeka agafuga omulimu guno wadde nga wakyaliwo empulunguse entonotono.