Ziizino emmotoka abadigize z'ebeesunga okuliiramu esswaga mu 2016

By Kizito Musoke

LAMBORNGHINI VENENO erabise okuvuganye ennyo.

Lab2 350x210

MU 2016, waliwo emmotoka z’otasaanye kusubwa kulabako. Abavubuka abali mu kkiraasi mu kiseera kino ze mmotoka eziboogeza obwama mu nsi yonna.

LAMBORNGHINI VENENO Y’emu ku mmotoka ez’omulembe, era nga yakula ng’ekitabo ate abamu bagamba nti efaanana ekyennyanja. ngumu ate ng’edduka emisinde gya kiromita 221 buli ssaawa.

Egula ensimbi za Amerika, doola obukadde buna. Emmotoka eno esobola okwebikkula waggulu ne mu mbiriizi. Abavubuka abali b’obulamu nga ne ssente zibayitaba ze bettanira okuvuga.

 orsche 919 pyder Porsche 919 Spyder

 

PORSCHE 918 SPYDER Eno yakolebwa mu United Arab Emirates, era ng’okugigula emalawo ssente ezisukka mu kakadde kamu n’emitwalo asatu eza doola za Amerika. Ya maanyi nnyo era ng’enywa kitono nnyo.

Bw’ogituulamu munda ebeera mpeewevu nnyo, era nga ngumu era nga si kyangu kwonooneka ng’efunye akabenje akatono. Bw’oba otamidde teva mu kifo, era nga mulimu ezinywa dizero n’endala petulooli.

FIAT TIPO Emmotoka ey’ekika kino ηηanzi nnyo mu Bulaaya ne Amerika. Ekika kya Fiat, Paapa Francis gye yajjiramu mu Uganda era bangi ne batandika okwegomba obumotoka obwangu. Mu ndabika erabika bulungi.

Egula ssente ezisukka obukadde 47 . Yakolerwa mu Yitale, kyokka ng’esuubirwa okwongera okulinnya ebbeeyi mu mawanga. JEEP WRANGLER Eno ya Mumerika era nga bagyagala nnyo olw’obugumu era ng’esobola okutambulira mu kitundu ekirimu enguudo embi awamu n’ensozi.

 ordendeavour Ford-endeavour.

 

Erina emipiira emigumu era nga ne bw’eba efunye obuzibu, abali munda tebatuukibwako mangu buzibu. AUDI NEW A4 Emmotoka ya mulembe nnyo nga yakoleddwa mu Amerika. Wadde wabaddewo ebika bya Audi ebirala, kyokka eno bw’ogituulamu munda ogiraba nga ngazi.

 

Abagagga bazettanidde nnyo. Egula obukadde obusukka 100 ng’ogiguze mu kkolero. Abantu abali mu kkiraasi bazettanira nnyo. TATA ZICA Eno yakoleddwa Buyindi, nga ya mulembe nnyo. Kungulu erabika ng’entono kyokka munda nga nnene bulungi. Erina ekifo we batereka ebyokunywa ne binnyogoga. Emmotoka eno ejja kwanjulwa mu makati ga February wa 2016. Abantu bangi bagyesunze kuba ewa agivuga emirembe era eggumira ku ttaka.

FORD ENDEVOUR

Yakoleddwa Buyindi kyokka ng’abamanyi ebiri ku mulembe bagyagadde nnyo. Yingini y’emmotoka eno mpangaazi era ewa emirembe kuba temala gafa. Kyokka abamu batandise okugijja omuze gw’okubeera ng’enywa nnyo bw’ogigeraageranya n’endala bwe benkanya amaanyi.

 Audi New A4

Ebitundu ebirimu enguudo enfunda, ebakaluubiriza kuba ngazi. SKODA NEW SUPERB Yakoleddwa mu India , kyokka nga mpangaazi era efaayo nnyo ku byokwerinda by’omusaabaze.

Erina ebisawo musanvu omuterekebwa omukka gwa Oxygen, era nga yazimbirwamu n’ebyuma ebizikiriza omuliro. Erina etundubaali erigibikka era ng’ esobola okusiba yokka ng’erengedde obuzibu mu maaso. Endala mulimu Abarth 500X, Alfa Romeo Giulia, Aston Martin DB11, Audi A5, Bentley Bentayga, BMW 5 Series, BMW M2.

Yakoleddwa Buyindi kyokka ng’abamanyi ebiri ku mulembe bagyagadde nnyo. Yingini y’emmotoka eno mpangaazi era ewa emirembe kuba temala gafa. Kyokka abamu batandise okugijja omuze gw’okubeera ng’enywa nnyo bw’ogigeraageranya n’endala bwe benkanya amaanyi. Ebitundu ebirimu enguudo enfunda, ebakaluubiriza kuba ngazi. SKODA NEW SUPERB Yakoleddwa mu India , kyokka nga mpangaazi era efaayo nnyo ku byokwerinda by’omusaabaze. Erina ebisawo musanvu omuterekebwa omukka gwa Oxygen, era nga yazimbirwamu n’ebyuma ebizikiriza omuliro. Erina etundubaali erigibikka era ng’ esobola okusiba yokka ng’erengedde obuzibu mu maaso. Endala mulimu Abarth 500X, Alfa Romeo Giulia, Aston Martin DB11, Audi A5, Bentley Bentayga, BMW 5 Series, BMW M2.