Omwalo gw’e Nakiwogo baguddaabirizza

By Musasi wa Bukedde

Abasaabaze ku mwalo e Nakiwogo batutte ekiseera nga batawaanyizibwa amazzi agabadde gaasalako ebbibiro lino.

Laga1 350x210

EKIBIBIRO okuyitibwa abeebidduka okuva n'okudda ku mmeeri y'e Kalangala e Nakiwogo e Ntebe eribadde lyasalibwako amazzi g'ennyanja Nalubaale isituddwa .

Abasaabaze ku mwalo e Nakiwogo batutte ekiseera nga batawaanyizibwa amazzi agabadde gaasalako ebbibiro lino.

Ying. Yahaya Kirenzi okuva mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula eyakulidde omulimu gw'okusitula ebbibiro lino yagambye nti basobodde okwongerawo amayinja ne malamu okusitula ebbibiro lino.

Yagambye namuttikkwa w'enkuba abadde afudemba ebiseera ebiwedde yavuddeko amazzi mu nnyanja Nalubaale mu kitundu ky'e Nakiwogo okwambuka waggulu olwo ekibibiro okuyita abantu abagenda n'okuva ku mmeeri okubeera wansi.

Ying. Barnard Khabakha, omukugu mu by'emmeeri mu minisitule y'ebyenguudo n’entambula yagambye kino kigenda kwongera okwanguyiza abantu ababadde babonaabona olw'amazzi okubatobya.

Emmeeri ya MV Kalangala yayungibwa mu 2005 n'etandika okukola mu 2006. Eddukanyizibwa kkampuni ya National Oil Distributors.

Emmeeri esimbula e Nakiwogo ku ssaawa munaana buli lunaku n’etuuka ku mwalo gw'e Lutoboka mu Kalangala ku ssaawa 11 ez’olweggulo era ng'eno gyesula.