Mmotoka ya nnaggagga Kirumira ey’ekyewuunyo: Egula obukadde 700!

By Joseph Mutebi

YIINO mmotoka y’omugagga Godfrey Kirumira ekika kya Lexus “LX570“ eyogeza Bannakampala obwama olw’endabika gy’erimu n’ebintu by’erina eby’omulembe.

Kiru1 350x210

YIINO mmotoka y’omugagga Godfrey Kirumira ekika kya Lexus “LX570“ eyogeza Bannakampala obwama olw’endabika gy’erimu n’ebintu by’erina eby’omulembe.

Mmotoka zino ekika kya “Lexus LX” modulo 2016 mu Uganda zikyalimu bbiri zokka, eya Kirumira ya petuloli, ya cc 570 n’eya nnaggagga Sudhir Ruparelia LEXUS “LX 450 D” eno enywa dizero naye nga zonna zigula obukadde obukunukkiriza mu 700 ng’omusolo guwedde.

Kirumira agamba nti bw’oyogera ku mmotoka eno abantu bayinza okukuyita omulimba naye mmotoka yo nsajja era bw’ogituulamu owulira nga kituufu Katonda alina eddaala ly’akutaddemu ery’enjawulo.

 exus 570  irumira gye yaguze bwefaanana emabega Lexus 570 , Kirumira gye yaguze bw’efaanana emabega.

 

 mupiira gwa exus 570 gugula obukadde 10 Omupiira gwa Lexus 570 gugula obukadde 10.

Erina kkamera ekika kya “GPS” esobola okulondoola omugoba waayo yonna gy’ali n’omanya ne ky’akola bw’oba oyagala kugisiba aleme kweyongerayo n’okikola.

Erina kkamera endala ezisobola okukulaga buli kintu ekiva buli ludda era bodaboda bw’ebeera ekuva emabega oba mu maaso ng’eneetera okusemberera emipiira gyayo gyaka n’omanya. Ate mmotoka yonna bw’eba eva emabega oba mu maaso, bw’ekusemberera, endabirwamu zaayo eza sayidimira zaaka akataala n’omanya nti ono ayinza okukutomera.

 mugagga irumira ngalaga emmotoka eno bwenyuma okutuulamu Omugagga Kirumira ng’alaga emmotoka eno bw’enyuma okutuulamu.

 kisumuluzo kyayo Ekisumuluzo kyayo.

 

Yagitaddeko ennamba y’obwannannyini eya “GK” ekitegezza Godfrey Kirumira ya langi njeru era agamba nti yaguze enjeru okwawukana ku Land Cruiser V8 enzirugavu , Range Rover Sport 4, Hummer 2, Benz 10 n’ebika ebirala by’abadde avuga.

“Erina siteeringi ya kika kya “Sport”, edduka nnyo. Siyinza kugamba nti y’emmotoka gye nsembyeyo okugula kubanga Abazungu bakola mmotoka buli mwaka ne bazimalirako amagezi ate nga naffe ssente zaffe tuzirina,” Kirumira bwe yagambye.

 wefaanana munda Bw’efaanana munda.

 

 ayidimmira ya bukadde 3 Sayidimmira ya bukadde 3.

 

Agamba: Bamakanika baazo wano mu Uganda tebaliwo okuggyako aba kkampuni ya Toyota Uganda bokka kubanga mmotoka zino zikyali mpya, zirimu tekinologiya wa waggulu era nga nnange okugivuga ng'enda nsoma nsome mu kitabo kyayo.

Saviisi yaayo ng'enda kuddamu okumukola ng’emaze okuweza kiromita 10,000 kubanga yaakajja ate natumizza ntumye.

irumira ngasoma ekitabo ekiraga enkozesa yemmotoka eno Kirumira ng’asoma ekitabo ekiraga enkozesa y’emmotoka eno.

 

Buli ekiri ku mmotoka eno kya bbeeyi, ettaala lyokka liri mu bukadde 10. Gano bw’oyasa erimu ogula sseeti nnamba, ate ogalagiriza bulagiriza. Buli sseeti ya doola 3000.

Akalabirwamu ak’ebbali kokka kali ku 3,000,000/-. Okumanya mmotoka eno erina tekinologiya wa maanyi eriko ekitabo kiramba kya miko 664 ekirimu ebigikwatako.