Suzuki Alto: Kati y’emmotoka esinga okukekkereza amafuta

By DAVID KIBANGA

EMBEERA y’ebyenfuna gye yeeyongedde okutabuka, abantu nabo gye beeyongedde okuyiiya amagezi agakekkereza ssente kyokka ne basigala nga bali mu bulamu obweyagaza.

Give 350x210

EMBEERA y’ebyenfuna gye yeeyongedde okutabuka, abantu nabo gye beeyongedde okuyiiya amagezi agakekkereza ssente kyokka ne basigala nga bali mu bulamu obweyagaza.

Batono ku bavuzi b’emmotoka abanyumirwa okugula amafuta amangi kyokka olw’okuba nti basangibwa tebalina kyakukola, bawalirizibwa okugagula. Eno y’ensonga lwaki emmotoka ekika kya Suzuki Alto etandise okufuuka ey’ettunzi mu Uganda.

Emmotoka eno, ya cc650 kwe kugamba nti ggwe avuga Raum, Fun Cargo oba Spacio w’oteeramu 10,000/-, ye owa Suzuki Alto ateekamu 3,000/-. Kitegeeza nti osobola okuva e Seguku ku lw’e Ntebe okutuuka mu kibuga ng’onywedde 4000/- zokka.

Abakyala bagyettanidde lwa kukekkereza. Mu kaseera kano, kumpi buli lw’olengera emmotoka eno, mukyala y’aba agivuga nga bwe kiri ku Spacio, Raum oba Fan Cargo.

Ku ntandikwa y’omwaka guno, Suzuki Alto yalondeddwa e Bungereza nga emmotoka esinga okunywa amafuta amatono ku zonna eziri ku luguudo.

Charles Kamunvi, akulira ekibiina ky’abayingiza emmotoka mu ggwanga era nnannyini Auto Link Uganda agamba nti emmotoka ekika kino erina emigaso njolo. Kamunvi agamba nti ng’oggyeeko eky’okuba nti enywa bwendo, nnyangu ya kupaakinga.

Ensangi zino, emmotoka ennene zisumbuyibwa okupaakinga naddala mu Kampala olw’ebbula ly’ebibangirizi naye bw’oba ofunye akamotoka nga ako osobola okupaakinga mu kifo kyonna.

Kamunvi agamba nti sakabuzooba yaako bw’okagula ng’ekyali nnamu, oyinza okumala akaseera ng’emmotoka yo teyonoonese kuba eba nnyangu ya kulabirira.

Kyokka Kamunvi alabula abo abaagala okugigula nti balina okwegendereza kubanga sipeeya wa Suzuki si mungi nga wa mmotoka za Toyota.

“Ekizibu kyokka ky’oyinza okusanga ng’ogifunye kya sipeeya waayo. Amaduuka agatuusa sipeeya wa Suzuki matono era oyinza okukaluubirizibwamu.” Kamunvi bw’agamba.

Bw’oba ovuga lugendo luwanvu, Suzuki Alto gyesonyiwe. Olw’okuba nti zirina yingini ennafu, emmotoka ekika kino ziba tezisobola bulungi hhendo mpanvu.

Ewuguka mangu nga ssinga emmotoka ennene nga bbaasi zikuyisa ku sipiidi, emmotoka yo esobola okuwuguka.