Bayombye olw’ebyuma ebikebera emmotoka enkadde

By Musasi wa Bukedde

Bayombye olw’ebyuma ebikebera emmotoka enkadde

Tu1 350x210

GAVUMENTI etuusizza ebyuma okwekebejja ebidduka mu nkola ey'obuwaze. Ebyuma bino byakusookera ku mmotoka ezaakayingizibwa mu ggwanga nga tezinnassibwako nnamba ssaako n’ezo ezisaabaza abantu omuli bbaasi ne takisi.

Kyo ekifo eky'enkalakkalira omuneekebejjebwa ebidduka e Matugga kyawedde okutegekebwa nga wano we bagenda okukolera ku bbaasi, takisi ne bodaboda okundika n'omwezi gwa September.

Winstone Katushabe omuwandiisi w'ekitongole ekivunaanyizbwa ku bidduka mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) yagambye nti kkampuini ya SGS eyapatanibwa minisitule y'ebyenguudo n'entambula okukola omulimu guno yatuusizza ebyuma bisatu, ebigenda okutandika okwekebejja ebidduka okulaba nga biri mu mbeera ekkirizibwa ku nguudo.

Ebyuma bikebera bbuleeki, obukono, emipiira oba mulimu embaliga, ttaala za mmotoka ne ‘spef’ mmita. Enteekateeka eno yali eddukanyizibwa ekitongole kya poliisi ekyekebejja ebidduka n'okugezesa baddereeva abaagala okufuna pamiti ekimanyiddwa nga Inspector of Motor Vehicles (IOV) e Naggulu mu Kampala ne ku matabi gaayo wonna mu ggwanga.

Kyokka enkola eno yali yadibizibwa emyaka 15 egiyise, kati yazziddwa mu kkampuni ya SGS eyayitamu okwekebejja ebidduka. Kyokka baddereeva b’ebidduka eby’enjawulo bayomba olw’engeri Gavumenti gy’ereese enkola ng’egenderera okubakamulamu ssente ennyingi emirundi ebiri mu mwaka, kubanga ekidduka kirina okwekebejjebwa buli luvannyuma lwa myezi 6.

Kino bakiggya ku kuba nti waliwo ssente ezaagerekeddwa buli kidduka bwe baba baakukyekebejja. Pikipiki zonna zaakusasula 46,000/-, 134,000/- ku takisi, 93,400/- ku mmotoka za buyonjo, 50,000/- ku Coaster, 800/- ku bbaasi, lukululana zaakusasula 16,000/-. Mmotoka ezisaabaza abantu zaakwekebejjebwa emirundi ebiri buli mwaka kuba zikola nnyo nga teziva ku nguudo ate nga zitambuza obulamu bw'abantu bangi.

Mu ndagaano kkampuni ya SGS gye yakola ne Gavumenti baalina okwegulira ettaka okuzimba ebifo ebyekebejja mmotoka ng’ebyo ebibadde ku poliisi ya IOV babireke okwekebejja mmotoka eziba zikoze obubenje