Munnayuganda atandiseewo ekkolero ly’emmotoka

By Moses Nsubuga

Emikisa gya Uganda okufuna ekkolero ly’emmotoka gyeyongedde okutangaala, oluvannyuma lwa Munnayuganda okutandikawo ekkolero eripanga emmotoka za bbaasi ennene ez’omulembe ng’ekirooto kye kya kutandika kwekolera bitundu bya mmotoka eno ebyenjawulo ng’asuubira okuzifulumya mu myaka etaano.

Funa1 350x210

Metu Katabaazi omwaka guno yatandikawo ekkolero ly’emmotoka lye yatuuma Metu Zhongtong Bus Company e Namanve mu kibangirizi ky’amakolero eripanga bbaasi ng’ebitundu by’emmotoka eno ebisinga yabiggya Buyindi mu kkampuni ya Zhongtong.

Ekkolero lino liggya ebitundu bya sipeeya oba ebyuma bya bbaasi eby’enjawulo e Buyindi ebipangibwa mu kkolero lyabwe e Namanve we bakolera bbaasi zino ezifuluma nga ziwedde okupangibwa mu buli kimu nga zifuluma zisobola okukola ku luguudo.

Katabaazi agamba ekkolero lino yalitandika n’emitwalo 35 egya ddoola nga kati lifulumya bbaasi ez’omulembe ezitundibwa ku bbeeyi eya wansi ennyo okwawukanako n’ezo ezisuubulwa ebweru w’eggwanga.

Zirina ebirungi bingi okusinga ezisuubulwa ebweru ng’okunywa amafuta amatono, okubeera ne sipeeya owa layisi kuba bamutuusa mu bungi n’okubeera ku mulembe ng’enzigi za limooti.

Bbaasi egula obukadde 400 zokka Zhong Tong bbaasi okufaananako ne bbaasi endala ezisuubulwa wabweru w’eggwanga etuuza abantu 67, erina oluggi olwa swiiki ne limooti, erina bbuutu ennene etikka ebintu ebiwerako, ng’ewenyuka emisinde kyokka ng’egulwa obukadde 400zokka okwawukanako n’ezisuubulwa ebweru ezigulwa obukadde 450 okutuuka ku 500.

Alina ekirooto ky’okukola sipeeya w’emmotoka Ebyuma byonna bye bapanga okukola bbaasi eno babisuubula wabweru wa ggwanga nga Katabaazi agamba nti ayagala kukendeeza muwendo gwa sipeeya oba ebitundu by’aggya ebweru nga mu myaka etaano alina ekirooto ky’okwekolera ebyuuma byonna ekitegeeza nti Uganda ejja kuba efunye ekkolero ly’emmotoka ng’Abazungu abeebuuzaako bwebuuza ku nsonga ez’enjawulo.

Ono agamba nti waakutandika n’ebitundu by’emmotoka ebyangu omuli ekitanda, kyesisi, diifu, entebe, enzigi, ggiya bokisi, n’ebirala wabula nga kati yamalirizza enteekateeka z’okuzimba ekkolero ly’entebe e Jinja.

Katabaazi agamba kino bw’anaaba akituuseeko waakutandika okukola emmotoka endala omuli pick up ne bu bbaasi obutono.

Ekkolero lino lyafulumya emmotoka esooka mu July ng’era bagamba nti olw’okuba batandika butandisi basobola okukola bbaasi 10 zokka buli mwezi nga balina ekirooto ky’okwongeza ku muwendo guno.

Wano Katabaazi we yasinzidde n’asaba Gavumenti obuyambi kuba singa emukwatirako kkampuni ye eno esobola okuku amangu ddala n’eyongeza ku bakozi nga gavumenti esaze ku misolo ku byuma by’ayingiza ssaako okumwongera ku kasente oba oku