Abatuuze b’e Buikwe batemye Abadaama abazzeeyo okweddiza ebibanja byabwe

By Musasi Wa

ABADAAMA abadduka mu Disitulikiti y’e Mukono olw’enjawukana z’ebyobufuzi emyaka 25 egiyise bakutte engugu zaabwe omwabadde eby’okulya nga obuwunga bwa Mawogo, enva n’ebirala ne baddayo mu bibanja byaabwe.


Bya TONNY NSOONA NE MUKASA KIVUMBI

ABADAAMA abadduka mu Disitulikiti y’e Mukono olw’enjawukana z’ebyobufuzi emyaka 25 egiyise bakutte engugu zaabwe omwabadde eby’okulya nga obuwunga bwa Mawogo, enva n’ebirala ne baddayo mu bibanja byaabwe.

Bino byaliwo emyaka 25 egiyise ku mulembe gwa Tito Okello Lutwa era ng’abasinga baagenze mu Ggombolola y’e Najja ne Ngogwe byonna ebisangibwa mu disitulikiti y’e Buikwe era ng’omu ku kubo, Onalanta Nyakecho yattiddwa.

Olutalo luno lwabadde mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga ku kyalo Bulutwe mu Ggombolola y’e Ngogwe. Abantu abalala baakubiddwa ne batemwa ebiso ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Anes Atieno eyavudde ku kyalo Malindi okumpi ne Namoni mu Ggombolola y’e Kityerera mu Disitulikiti y’e Mayuge.
‘Bba wange yafa, n’abaana buli omu yakwata lirye kyokka nnina abazzukulu abeetaaga okusomesa, ate n’embeera gyendimu yeetaaga buyambi kubanga sikyasobola kukukaakalukana amaanyi gampedde’, Nyakecho bwe yategeezezza omusasi ono nga baakatuuka.

Abalala abafunye ebisago kuliko :Wasswa Ogwana eyavudde e Magamaga mu Disitulikiti y’e Mayuge, Agnes Athieno eyavudde

Abatuuze b’e Buikwe batemye Abadaama abazzeeyo okweddiza ebibanja byabwe