Temujja mu Kampala nga temwetegese

By Musasi Wa

Ssebo Bukedde, Abantu abali mu byalo ekirowoozo ky’okufuna buli kye mwetaaga nga muli e Kampala mukyeggyemu.

2011 10largeimg202 oct 2011 230709770 350x210

Ssebo Bukedde, Abantu abali mu byalo ekirowoozo ky’okufuna buli kye mwetaaga nga muli e Kampala mukyeggyemu.

Eno abaliyo okubeera obulungi babonaabona oba olina okwefiiriza. 
Abantu bwe bava e Kampala baddayo ne banyumiza ab’omu byalo nti ekiri eno kirungi nnyo ne batamanya nti tewali kijjira ku mukeeka.
 
Buli kimu oba olina okukikolerera. Ab’omu byalo bwe bawulira ebyo abamu bakwatamu ebyabwe nga balinnya bbaasi wabula bwe batuuka kuno nga tebalina we basula wadde kye balya.
 
Kino kiwalirizza bangi okudda ku nguudo ne basabiriza. Obasanga beebase ku mbalaza z’ebizimbe nga beebisse na buveera.
Nsaba aba bbaasi bakomye okubaleeta e Kampala kuba bajja kubonaabona. 

Temujja mu Kampala nga temwetegese