Ab’e Mende bawonye okusomera wansi w’emiti

By Musasi Wa

Ekizimbe kyazimbiddwa ku ssomero lya bonnabasome erya St. Jude Banda Primary School erisangibwa mu Ggombolola y’e Mende mu Wakiso.<br /><br />Kino kyaddiridde omukulu w’essomero lino, John Kiyita ng’ayita mu disitulikiti okuwandiikira Gavumenti ya Japan ng’agisaba okudduukirira essomero lyab

Ekizimbe kyazimbiddwa ku ssomero lya bonnabasome erya St. Jude Banda Primary School erisangibwa mu Ggombolola y’e Mende mu Wakiso.

Kino kyaddiridde omukulu w’essomero lino, John Kiyita ng’ayita mu disitulikiti okuwandiikira Gavumenti ya Japan ng’agisaba okudduukirira essomero lyabwe balizimbire ebizimbe eby’omulembe abayizi bawone okusomera wansi w’emiti.

Omubaka wa Japan mu Uganda, Kazuo Minagawa mu kuggulawo ekizimbe gye buvuddeko yasabye abasomesa n’abazadde okukirabirira obulungi basobole okukiganyulwamu n’abaana.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika yasabye abazadde okutwala abaana baabwe mu masomero basome okusinga okubakozesa emirimu gy’awaka oba okutunda ebintu.

Yawadde eky’okulabirako ky’abaana abakozesebwa okukuba amayinja mu kirombe ky’e Mende, kye yagambye nti kikotoggera enkulaakulana y’ekitundu kyabwe.

Ab’e Mende bawonye okusomera wansi w’emiti