Dr. Byabashaija atongozza ekyuma ekikaza embaawo

By Musasi wa Bukedde

AKULIRA ekitongole ky’amakomera, Dr. Johnson Byabashaija atongozza ekyuma ekikaza embaawo n’asaba Gavumenti okubongera ssente kubanga bazikozesa bulungi.

Omukolo guno gubadde mu kkomera e Luzira era Byabashaija n’alabula abaserikale abagenda okukikozesa okukikuuma nga bakozesa obukugu bwe babasomesezza basobole okutuukiriza ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky’okutumbula ebintu ebikolebwa mu Uganda nga bayita mu nkola BUBU.

Yabalabudde okukomya okwekwasa nti tebalina mbaawo za kukozesa mu mabajjiro g’amakomera nga balina okuwaayo ebibajje ebyetaagibwa mu bitongole bya Gavumenti ebyabasaba okubakolera ebibajje.

Ekyuma kino kimazeewo ssente ezisobye mu bukadde 500.