Aloopye landiroodi okumukuba

By Musasi wa Bukedde

OMUPANGISA aloopye landiroodi ku poliisi y’e Kanyanya omusango gw’okwekobaana n’abavubuka abalala ne bamukuba ne bamuwogola oluba ng’agamba nti takyasobola kugaaya kintu kyonna kati anywa bunywi.

OMUPANGISA aloopye landiroodi ku poliisi y’e Kanyanya omusango gw’okwekobaana n’abavubuka abalala ne bamukuba ne bamuwogola oluba ng’agamba nti takyasobola kugaaya kintu kyonna kati anywa bunywi.

Charlton Kalafa 29, omutuuze mu Lutunda zooni e Kanyanya ye yaloopye Joseph Muyomba mutabani wa ssentebe wa zooni eno, Rose Matovu ku poliisi y’e Kanyanya n’amuggulako omusango gw’okwekobaana n’abavubuka abalala ne bamukuba ne bamutuusaako ebisago oguli ku fayiro nnamba SD:02/09/04/2019.

Kalafa agamba nti nga April 8, 2019, ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro Muyomba yamutumya kyokka bwe yamutuukako n’amupacca empi n’oluvannyuma n’alagira abavubuka bana ne bamukuba.