Mukomye okukaaba ssente z’okulabirira abaana ku masomero’

By Dickson Kulumba

Akoze omukolo ogw'okwebaza

Muf2 350x210

OMUMYUKA owookubiri owa Katikkiro wa Buganda, Dr. Twaha Kaawaase Kigongo akoze omukolo gw’okwebaza Katonda olw’okulondebwa ku bukulu buno n’asoomooza abazadde mu Buganda okukomya okwemulugunya n’obutayagala kusasulira baana nsimbi zibalabirira nga bali ku masomero.

Dr. Kaawaase nga ye Minisita w’ebyenjigiriza e Mmengo yagambye nti, “Kino kye kitundu ekisingamu abazadde abakaaba olw’ensimbi entono ze babasaba okulabirira abaana ku masomero era bwe tutaakyuse, tuli baakusigalira mabega.” Bino yabyogeredde ku Muzikiti e Kibuli awaabadde okwebaza kuno ku Lwokutaano n’agamba nti enkola ya Federo y’egenda okuyamba okubbulula ebyenjigiriza mu ggwanga okulaba omutindo gw’amasomero mu byalo okuli Nakijju e Gomba gye yasomera gweyongera kubanga mu kiseera kino amasomero mu byalo gali mu mbeera mbi era tesobola kuvaayo bakulembeze ba nkya.

Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye abalonzi okuteeka ku nninga abeesimbyewo bababuulire kye bategese okukola ku nsonga ya Federo.

Omukolo guno gwatandise n’okusaala oluvannyuma ne waddawo dduwa okwebaza Katonda ng’eno yakulembeddwa Supreme Mufti Siliman Kasule Ndirangwa eyakubirizza abantu okukozesa akalulu kaabwe okulonda abakulembeze abanaabagasa.

Omukolo gw’okusaala gwetabiddwaako Namasole Siwoza, baminisita Christine Mugerwa Kasule ne Rita Namyalo n’eyali minisita wa Kabaka Florence Nakiwala Kiyingi Omulangira Kassim Nakibinge yeebazizza abantu okusabira n’okuwagira Kibuli mu kiseera ky’okufiirwa Supreme Mufti Sheikh Kayongo ate ne mu kulondebwa kwa Sheikh Ndirangwa.

Nakibinge yagambye Dr. Kaawaase nti, “ Nze sigenda kukukulisa kutuuka ku bukulu buno wabula okukweraliikirirako nti ozze mu buzibu kubanga omukulembeze yenna kasita ojja mu butaala n’abaagala ogwe beeyongera bungi kyokka olina okuba omunywevu okuvvuunuka kino.” Kabaka yakola enkyukakyuka mu kabineti nga October 10, 2015, mwe yalondera Dr. Kaawaase ku bukulu buno era n’amwongerako okuba avunaanyizibwa ku kulaba ng’obweruufu bweyoleka mu bitongole by’Obwakabaka.

Omukolo gwetabyeko Nnabagereka, abamyuka ba Katikkiro, Bakatikkiro abaawummula; Dan Muliika ne Joseph Ssemwogerere, Abalangira Wasajja ne Jjunju, Bannaalinnya Kagere ne Tebattagwabwe, Sipiika Nelson Kawalya n’abaami b’amasaza. Bannabyabufuzi kwabaddeko Hajji Moses Kigongo, Ali Kivejinja, Asuman Basalirwa, Loodi Meeya Erias Lukwago, Matia Bwanika ne Amama Mbabazi