Museveni alabudde Abamba n'Abakonzo okukomya entalo z'amawanga

By Musasi wa Bukedde

Ekisuubizo kino Museveni yakikoledde ku Burambagira Primary School e Bugendera bwe yabadde anoonya akalulu mu disitulikiti y’e Bundibugyo.

Museveni 350x210

PULEZIDENTI Museveni agambye nti okumalawo enkaayana wakati w’Abamba n’Abakonzo agenda kuwagira eky’okusuumuusa essaza lya Bugendera efuuke disitulikiti okuva ku Bundibugyo.

Ekisuubizo kino Museveni yakikoledde ku Burambagira Primary School e Bugendera bwe yabadde anoonya akalulu mu disitulikiti y’e Bundibugyo.

Abantu baakubye engalo n’enduulu ey’oluleekereeke nga basanyukira ekisuubizo kino.

“Saagala disitulikiti ya buvuyo, erimu entalo z’amawanga. Disitulikiti eteekwa okuba ng’ewa abantu obukulembeze obutuukiridde so si ttwaale lya bukulembeze obwensikirano. Era tulina okussa emikono ku ndagaano okukakasa nti disitulikiti egenda kuwa obukulembeze obutuufu,” Museveni bwe yaggumizza.

Abatuuze baawakanyizza ebyabadde bisoose okwogerwa nti disitulikiti empya baabadde baagala kugikwasa Omusinga Charles Mumbere owa Rwenzururu kubanga abantu abasinga obungi abali mu kitundu kino bava Kasese.

Museveni yabategeezezza nti akooye endooliito wakati w’Abamba n’Abakonzo olw’akantu akatono kwe kubawa disitulikiti kubanga ne mu bitundu ebirala waliyo disitulikiti entono ennyo nga Kalangala.

Yanenyezza abatumbula obusosoze mu mawanga n’agamba bano be balemesa enkulaakulana mu bitundu byabwe.

Yasuubizizza nti gavumenti egenda kukola oluguudo lwa Ntandi – Bugendera – Bundibugyo n’abeebaza olw’okubeera abakozi nga balima kkooko, emmwaanyi n’omuceere gwa Bukenya (upland rice).

Yabawadde amagezi ku bino bagatteko okulunda enkoko, embizzi, n’ente ezivaamu amata okusobola okutumbula ebyenfuna byabwe.