Museveni ayongedde obuwumbi 10 okumaliriza Namugongo

By Musasi wa Bukedde

Museveni ayongedde obuwumbi 10 okumaliriza Namugongo

Nam2 350x210

AKULIRA kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde Mw. Robert Kabushenga akwasizza Klezia ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 340 kkampuni ze yakuηηaanya ng’eggwanga lyetegekera okukyala kwa Paapa Francis.

Ensimbi Kabushenga yazikwasizza Ssaabasumba w’essaza Ekkulu erya Kampala, Cyprian Kizito Lwanga mu kusaba okw’okwebaza olw’okukyala kwa Paapa n’okusabira eggwanga okubeera n’okulonda okw’emirembe okwabadde ku kiggwa ky’omujjulizi Anderea Kaggwa e Munyonyo okwetabiddwaako ne Pulezidenti Museveni.

Pulezidenti Museveni yagambye nti ne Gavumenti yawaayo ensimbi ezisoba mu buwumbi 80 okutegeka emikolo gy’okukyala kwa Paapa. Yagambye nti Gavumenti yagula ettaka lya Klezia erisangibwa okumpi n’ekisaawe e Ntebe ku buwumbi 32 era n’ewa ne Klezia ensimbi endala obukadde 36 kwe yagatta n’endala obuwumbi busatu ze yawa Abakrisitaayo e Nakiyanja okukola ku kukyala kuno.

‘’Ndi musanyufu kuba Gavumenti yammwe yasobola okukola ku kukyala kwa Paapa era okujja kwe kituyamba ng’eggwanga okwongera okuleeta abalambuzi’’ Museveni bwe yagambye.

Yakubirizza abantu okukola ennyo baggaggawaze amaka gaabwe kiyamba abantu okuba obulungi n’okutumbula emirimu gya Klezia n’okuwa gavumenti emisolo. Era n’akunga abantu okwewala okufuna Siriimu n’okuwanyisa ettamiiro. ‘’ N’olaba omuntu ng’amatama gazimbye nga yenna ayengedde ng’eryenvu.

Okunywa omwenge ssi kirungi’’ Museveni yabadde ne mukyala we Janet Museveni. Museveni ayongedde obuwumbi 10 okumaliriza okuzimba Namugongo. Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga yeebazizza Gavumenti olw’okuwa abantu emirembe n’asaba n’abakiriza okugikuuma mu maka.

Ku nsonga z’okutunda ssapule, Ssaabasumba yagambye nti Klezia tetunda mukisa n’agamba nti kino kyakolebwa ng’akabonero k’okujjukira okukyala kwa Paapa n’asaba ababadde bawalampa Klezia bakikomye. Yavumiridde abonoona erinnya lya Klezia n’agamba bakikomye kuba ebyogerwa ssi bituufu.