Besigye eperereza ab'e Lira okumuyiira obululu alye Obwapulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Besigye kampeyini ze azitandise na kulambula Malaalo g'omu ku bannakibiina kya FDC, Atyanga Norah ku kyalo Anyualo Nino mu munisipaali y'e Lira ng'ono yaliko kamisona mu disitulikiti y'e Kitgum.

Mateo 350x210

Dr. Kizza Besigye, akwatidde FDC bendera atandise kampeyini ze ezinaamutuusa ku bukulembeze bw'eggwanga ng'olwaleero agenda kusiiba atalaaga disitulikiti y'e Kole ne Lira ng'aperereza abaayo okuyiira obululu.

Besigye kampeyini ze azitandise na kulambula Malaalo g'omu ku bannakibiina kya FDC, Atyanga Norah ku kyalo Anyualo Nino mu munisipaali y'e Lira ng'ono yaliko kamisona  mu disitulikiti y'e Kitgum.

Besigye asuubizza famire nti ekibiina kijja kugenda mu maaso n'okubayamba mu ngeri emu oba endala.