Emmaali etabudde bannamwandu ba Hajji Katende e Ntinda

By Cathy Lutwama

MUKYALA muto gwe baagobye mu nju olw’okulemererwa okusasula ssente z’obupangisa e Mpereerwe, atisse ebintu by’omu nju byonna n’abitwala mu wooteeri eddukanyizibwa mukyala mukulu n’ategeeza nti tayinza kuzunga na nsi nga bbaabwe omugenzi Hajji Abdu Wahabu Katende yaleka abakoledde entegeka.

Hajjkatende1 350x210

 

MUKYALA muto gwe baagobye mu nju olw’okulemererwa okusasula ssente z’obupangisa e Mpereerwe, atisse ebintu by’omu nju byonna n’abitwala mu wooteeri eddukanyizibwa mukyala mukulu n’ategeeza nti tayinza kuzunga na nsi nga bbaabwe omugenzi Hajji Abdu Wahabu Katende yaleka abakoledde entegeka.

Zaitun Nantongo ye yali mukyala muto wa Hajji Katende eyali ow’e Ntinda, nga yali yamupangisiza ennyumba mu Nakiyanja zooni e Mpereerwe.

Yagambye nti ekiseera kye yamala ne Hajji Katende eky’emyaka 17 yasanga muggya we ono yanoba dda mu ddya, kyokka mu kiseera kino yakomezebwawo batabani be mu lukujjukujju era nga yaddukanya wooteeri bba gye yaleka azimbye, ekintu ky’atayinza kukkiriza.

 

 

 mugenzi ajj atende Omugenzi Hajj Katende

 

Nantongo yagambye nti, ye yalina ebiwandiiko by’emmaali ya bba byonna okutuuka bba bwe yafa ekibwatukira mu 2015.

Kyokka oluvannyuma lw’okuziika, ab’Ekika baatuuza olukiiko ne bamusaba alondeyo abaana ba bba babiri b’anaasobola okukwatagana nabo mu kuddukanya eby’obugagga bya bba. Yagambye nti mu kisa ekingi, yasalawo okukomyawo omukwano gw’abaana ba Hajji abakulu okwali Isaac Katende ne Faridah Katende ne bakkiriziganya nti be bagenda okuddukanya wooteeri eyitibwa Ntinda Forest Hotel okuliraana ekitebe kya UNEB.

Abaana bano baasalawo okukomyawo nnyabwe eyali yanoba edda nga yafumbirwa ne bamuleeta baddukanye wooteeri. Baasalawo n’okukyusa erinnya lya wooteeri ne bagituuma Ntinda Close Motel mu ngeri y’okugyeddiza.

“Hajji ebbanga lyonna lye tumaze naye abadde tandabyangako ku nnaku era ng’abaana be abafaako naye laba abaana bwe batuuka n’okugobwa ku masomero nga kino kyali tekibanga wo bukyanga mbeera mu bufumbo ne baze,” Nantongo bwe yategeezeza.

Nantongo yagambye nti abadde apangisa ku nnyumba za Hajji Lwere era we baamugobedde nga bamubanja obukadde bubiri ez’obupangisa ng’abaana be yakwasa wooteeri babadde tebakyamuwa ssente.

ISAAC KATENDE AWANYISIGANYA EBIGAMBO ne NNYINA OMUTO

Olutalo lw’okuyingiza ebintu bya nnamwandu mu wooteeri lwanyinnnyitidde Katende n’atuuka n’okulangira nnyina obubbi n’agattako nti okugiyingiramu ajja kumala kulinda, ng’amaze okufa.

Kyokka ne Nantongo yalangidde Katende nga kitaawe bwe yali amuzaalukuse era nga ye yamwegayirirako n’amuddiramu.

Nantongo wadde yazze n’emmotoka y’ebintu, tebaamuganyizza kuyingira era ebintu bye byasuze wabweru okutuukira ddala ku Lwokuna ku makya, kyokka obwedda awera nga bw’ajja okuyingira mu buli mbeera.

ukyala mukulu arah akooza Mukyala mukulu Sarah Nakooza

MUKYALA MUKULU ALAYIDDE OBUTAKKIRIZA MUGGYA WE KUYINGIRA WOOTEERI

Sarah Nakooza mukyala mukulu bwe yategedde nti muggya we aleese ebintu, yagaanye okuggulawo geeti n’ategeeza nti mukyala muto asussizza okumuyingirira.

Yagambye nti, yafumba ewa Hajji Katende emyaka 20, nga mu kiseera kino ssente eziva mu wooteeri zirabirira abaana ba Haji abawera 12, ate nga mukyala muto alowooza nti b’azaala bokka be baana.

“Oyo omukyala by’ayogerako ebyokufumba ebbanga ery’emyaka 17 bya kwerimba kuba nafumba emyaka 20 kuba baze yampasa nnina emyaka 17 era bagagga banne okuli, Drake Lubega, Kirumira n’abalala bonna bamanyi,” Nakooza bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, Nantongo by’awoza nti ye mutongole olw’okuba gwe baawoowa bya kwerimba kuba naye wadde teyali Musiraamu, bba yasobola okumugatta mu bufumbo bwa diisi.