Abatuuze b'e Buwama batidde olwala kolera ne basitukiramu

By Musasi wa Bukedde

Abatuuze b'e Buwama batidde okulwala kolera ne basitukiramu

Co1 350x210

ABATUUZE b’e Buwama beeraliikirivu olwa kasasiro amaze ebbanga nga tayoolebwa mu kitudu kyabwe gwe bagamba nti yandibaleetera endwadde eziva ku bucaafu. Wadde ng’obubuga bw’e Mpigi obusinga bwafuna ebipipa omusuulibwa kasasiro, okuva bwe byaleetebwa, abatuuze tebalabanga ku mmotoka zibisomba ng’ekivundu kibuutikidde akabuga konna.

Avunaanyizibwa ku buyonjo mu Buwama, Eugen Wamala yagambye nti, ekiremesezza okuyoola kasasiro be batuuze abaagaana okusasula 500/- buli wiiki nga ssente zino za kulabirira emmotoka emusomba. Emmotoka esomba kasasiro e Buwama yafa ate n’abatuuze abasinga baalemererwa okusasula 500/- buli wiiki ez’ebisaaniiko.

Yagambye nti emmotoka mu kiseera kino yayonooneka kyokka ne bwe yandibadde ennamu, ssente z’amafuta oluusi zibula. Yategeezezza nti wadde baaweebwa ekifo awakuhhaanyizibwa kasasiro kyokka abatuuze abamu bakyamala gamumansa buli wamu.

N’agamba nti embeera eriwo yeeraliikiriza nti abantu bandirumbibwa endwadde ng’okuddukkana, kkolera n’endala eziva ku bucaafu. Ssentebe w’eggombolola y’e Buwama, Frank Kasule yategeezezza nti baatuuzizza olukiiko okwongera okutema empenda z’okufunamussente ezirabirira emmotoka esomba kasasiro naddala okugifunira amafuta kyokka terwavuddemu kalungi.

N’agamba nti ssente za buli wiiki baazissa ku 500/- nga balowooza nti abantu bajja kuzisasula kyokka kibeewuunyisa okulaba nga tebazireeta nga beerabidde nti omuntu bw’alwala kitwala ssente nnyingi okumujjanjaba.

Mu kiseera kino kasasiro yajjula mu bipipa mwalina okuteekebwa ng’abantu batandise kumuyiwa wansi. Wabula abatuuze abamu omusango baagutadde ku bakulembeze baabwe be bagamba nti mmotoka ya kasasiro babadde bagitwala mu byalo n’ekola emirimu gyabwe. Ne bagamba nti ku byalo bagiraba ng’etambula bulungi kyokka bwe batuuka okusomba kasasiro nga babategeeza nga bwe yayonoonese, bo kye balaba ng’ekyekwaso.

Basabye abakulembeze baabwe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe okusinga okwekwasa abantu abatasasula ssente kubanga kibakakatako okukuuma ekitundu byabwe nga kiyonjo.