Sserunjogi bamututte mu kkooti ave mu ntebe

By Joseph Mutebi

EYAVUGANYA ku kifo ky'Obwameeya wa Kampala Central, Muhammed Kibedi Nsegumire agenze mu Kkooti Enkulu n'asaba basazeemu Charles Musoke Sserunjogi gwe baalangirira ku kifo kino nti baamulangirira mu bukyamu.

Kibedi1 350x210

Bya JOSEPH MUTEBI

EYAVUGANYA ku kifo ky'Obwameeya wa Kampala Central, Muhammed Kibedi Nsegumire agenze mu Kkooti Enkulu n'asaba basazeemu Charles Musoke Sserunjogi gwe baalangirira ku kifo kino nti baamulangirira mu bukyamu.

Nsegumire eyabadde ne looya we Hassan Kamba owa Tulinawe Kamba And Co Advocates. Eggulo baatuuzizza olukuhhaana lwa b’amawulire ku ofiisi za Kamba ku Bombo Road.

Kamba yategeezezza nti, okusinziira ku mpapula ezabalirwako obululu ze balina n'abakungu b’akakiiko k'ebyokulonda bonna abakulira ebifo awaalonderwa mu Kampala Central ziraga nti, omuntu we yawangula akalulu.

"Bwe kiba ng'eyali akulira okulonda mu Kampala Charles Ntege yali amanyi okubala n'okugatta obululu obulungi atya yawubisibwa n’alangirira Sserunjogi ku bululu 13,717 ng'ate Nsegumire yalina omugatte gwa bululu 15,981 wabula ne balaga nti yafuna obululu 10,153”, bwatyo Kamba bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti abantu baali bana ku kifo kino wabula mu kulangirala Sserunjogi baalaga obululu bwa bantu basatu bokka; Musoke Sserunjogi (Independent - 13,717), Nsegumire Muhammed (NRM - 10,153), Muhammed Kyambadde Zziwa (DP), ate Mawanda Hummer FDC teyaliiko ng'ate mu bululu bwe obutuufu bwali 1,230.

Kamba yagambye nti, balina obukakafu nga Nsegumire yawangula ku bululu 15,981 ate Sserunjogi n’afuna 13,383.

Nsegumire awawaabidde n'akakiiko k'ebyokulonda okulangirira Sserunjogi nti, obuwanguzi bwali bubwe. Ebbaluwa z'okuwaaba baazitwalidde akulira ebyamateeka mu kakiiko k'ebyokulonda Janiffer Angeyo n’assaako omukono.

Charles Sserunjogi naye baamuwadde ebbaluwa emulaga nti bamuwawaabidde n’agiteekako omukono nti agifunye.