Omusajja eyayiira mukazi we asidi n’amutta naye bamukutte

By SHAMIM NABUNNYA

Yategeezezza poliisi nti yeewera okukola mukazi we ‘ekintu’ era mu busungu yasalawo okujja mu Kampala n’anoonya edduuka eritunda asidi atannatabulwamu mazzi.

Kaliisa1 350x210

 

KALIISA olumukutte ku by’okuyiira mukazi we asidi n’amutta, omusango tagwegaanye!

Attottoledde poliisi ebyaliwo byonna n’engeri gye yatuuka okusalawo okugula asidi amuyiire omukazi gwe yali amaze naye emyaka egikunukkiriza ekkumi. Asidi yatwaliramu n’omwana waabwe ow’emyaka omusanvu Shamim Kemigisha.

Imran Kaliisa 27, baamukutte oluvannyuma lw’emyezi ena nga yeekukumye mu Bugwanjuba bwa Uganda.

Yasooka kwekukuma Kamwenge oluvannyuma n’adda mu disitulikiti z’e Bunyoro mw’abadde yeewogoma mu booluganda n’emikwano era eyo gye baamukwatidde n’aleetebwa ku poliisi y’e Katwe.

Baggyeeyo fayiro CRB 139/2016 eyali yaggulwawo ku kuyiira Justine Aisha Nyamugisha 23, ne bamubuuza ky’amanyi ku asidi eyaviirako omukyala oyo okufa era n’akkiriza nti byonna ebyaliwo mu kiro kya January 7, 2016 abimanyi.

Bombi baali babeera Makindye mu Mubaraka Zooni. Justine bwe yafumbirwa Kaliisa kwe kuweebwa erinnya lya Aisha era baasooka kubeera mu mukwano omuzibu okutuusa omusajja lwe yatandika okuteebereza mukazi we obwenzi.

Justine yali akolera mu ‘Container Village. 

ASIDI YAMUGULA OMUTWALO GUMU

Kaliisa yategeezezza poliisi nti yabuuzanga mukazi we entakera ku basajja abaamukubiranga amasimu ekiro, nga yeegaana nga bw’atabaagala.

Nti yatandika okukeberanga mu bintu by’omukazi era mu kwefulukuta nti mwe yagwira ku kkaadi eyali eraga ng’omukazi bwe yalina akawuka ka mukenenya.

Nti omusajja yava mu mbeera n’alinda mukazi we okudda era olwakomawo n’amubuuza ku by’obulwadde. Kaliisa agamba nti omukazi yabyegaana.

Yategeezezza poliisi nti yeewera okukola mukazi we ‘ekintu’ era mu busungu yasalawo okujja mu Kampala n’anoonya edduuka eritunda asidi atannatabulwamu mazzi.

Yalifuna era baamumuguza 10,000/- zokka n’adda eka.

Kaliisa yatandika oluyombo mu bugenderevu ng’anoonya oluwenda oluyiira mukazi we asidi era baasooka kukubagana kyokka omukazi ne yeesimattula n’addukira ewa mukwano gwe.

Omwana naye yagoberera nnyina. Ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro, Kaliisa yasalawo okugenda yeegayirire mukazi we badde ewaka, kyokka kano yali akakozesa ng’akakodyo okufuna omukisa ogumuyiira asidi era olwamukimayo, baali baakatambulako mmita nga 10 zokka n’alyoka abunduggulira Justine asidi mu maaso era n’asammukira n’omwana.

Poliisi yasoose kukwata mwannyina wa Kaliisa ayitibwa Mbabazi era ono ye yayambyeko mu kaweefube w’okuzuula Kaliisa.

Justine yafudde wiiki bbiri eziyise oluvannyuma lw’okumala emyezi esatu n’ekitundu ng’ajjanjabirwa e Mulago era Kaliisa yagguddwaako gwa butemu.

Wilson Muhiirwe taata w’omuwala yagambye nti ayagala amateeka gakangavvule Kaliisa.

Benon Ayebare akulira bambega ba poliisi mu Kampala South yagambye baakutwala Kaliisa mu kkooti wiiki ejja.