Ambyulensi etomedde ng’etwala omulambo

By Musasi wa Bukedde

Ambyulensi etomedde ng’etwala omulambo

Mo1 350x210

AMBYULENSI eyabadde etwala omulambo e Mulago okuva mu ddwaaliro e Lubaga efunye akabenje n’erumya abantu babiri.

Emmotoka eno (UAT 952X) yabadde ekkirira okuva ku ddwaaliro e Lubaga ku luguudo oludda e Nateete n’eremerera ddereeva n’etomera omuti gw’essimu. Omulala eyabadde mu maaso (eyategeerekeseeko erya Sebeti) baamututte e Mulago ng’ataawa.