Ebifo 10 ebisinga okuba eby’obulabe mu Lubaga

By Musasi wa Bukedde

Ebifo 10 ebisinga okuba eby’obulabe mu Lubaga

Lub1 350x210

EMIRUKA; Kabowa, Ndeeba, Najjanankumbi I ne II, Mutundwe, Kibuye gye gimu ku gisingamu abantu mu Munisipaali y’e Lubaga wamu n’okubeera ‘bbize’. Wabula obumenyi bw’amateeka nabwo bweriisa nkuuli.

Eno waliyo ebitundu gy’otosaalimbira naddala ng’enzikiza ekutte. Mu bifo ebimu, bakubiramu abantu obutayimbwa, okukwakkula ku bakazi obusawo, okutegekeramu obulumbaganyi, okugabanirawo eminyago, okukwata abakazi, okunyweramu enjaga, okufera abatambuze n’okutemuliramu.

Akulira ebyokwerinda mu muluka gw’e Kabowa, Isaac Ssewankambo agamba nti ekizibu kya Kabowa ekisinga obunene bye bibinja by’abavubuka n’abaana abato abalina enfo zaabwe ez’enjawulo mwe basisinkanira n’okugabaniramu eminyago.

Waliwo n’ebirala omusuulibwa abantu be batemudde. “Abeebyokwerinda ne poliisi bakoze butaweera okulwanyisa obumenyi bw’amateeka wabula oluyimbulwa nga bakomawo okutigomya,” Ssewankambo bw’akkaatiriza.

 isuufu    YISUUFU IGA EYAKWATIDDWA MUKUTUNDA ENJAGA

 Ebimu ku bifo by’olina okwegendereza Ku luguudo lw’eggaali y’omukka wonna we luyita okuva e Kibuye okutuuka e Busega mu Lubaga lwa bulabe nnyo.

Justine Nannozi mu Ndeeba agamba yali ayita ku luguudo lw’eggaali y’omukka akawungeezi abayaaye ne bamukuba oluyi n’awunga ne bamunyagako ensawo ne badduka. Omuwala Florence Nambuusi naye emabegako yattibwa mu bukambwe bwe yali ava okugula ebintu ku dduuka ekiro, abavubuka baamusobyako kirindi n’oluvannyuma ne bamutuga ne bamuttira okumpi n’ewaabwe mu Zooni ya Central e Kabowa.

Ku Kagulumu mu Ndeeba; Eno ababbi b’ekibinja kya Kifeesi gye basinziira okugabana omunyago n’okukola ennumba zaabwe. Ku siteegi ya Kibade e Kabowa we bayita mu matoffaali; Waliwo ekirombe ky’amatoffaali omugambibwa okwekweka ababbi n’okunywerawo enjaga. Abatuuze balumiriza nti omubbi bw’anyaga n’addukira ku siteegi eno, poliisi kizibu okumuggyayo kuba ababodaboda bamukweka n’okumuwolereza.

Ku ttaawo e Kibuye, awayita eggaali y’omukka; Eno mpuku ya bamenyi b’amateeka, enjaga baginywa misana ttuku era tekibagaana kukunyaga misana wadde abantu balaba. Ate bwe bakubbira wano, teri akutaasa, buli omu agenda mu maaso na mirimu gye. Justine Namuju, omusuubuzi mu katale k’e Kibuye agamba nti ababbi b’ekibinja kya Kifeesi buli lwe bamala okunyaga abantu ababeera mu kalippagano k’emmotoka ku luguudo lw’e Ntebe, mu ttaawo mwe baddukira era enjaga baginywerawo kyere.

Ku TV Center mu Ndeeba, emabega waayo mu zooni ya Spire nawo waabulabe nnyo naddala mu budde bw’ekiro, ababbi bateegerawo abantu. Akulira ebyokwerinda mu muluka gwa Ndeeba, Ibrahim Nsubuga agamba; tufuba okukola ebikwekweto naye abayaaye kirabika baamanyiira amakomera, olubata batandikira we baakoma.

Ku kitaka emabega wa Nsiike, ku wooteeri ya Mamba mu Ndeeba, ku luguudo lwa Wamala oluva e Najjananakumbi ku lw’e Ntebe okudda e Kabowa nalwo waliwo amakoona ag’obulabe wabeerawo abavubuka abateega abantu ekiro ne babanyaga ebyabwe.

E Mutundwe we bayita mu Kabaawo emabega w’akatale nawo wa mutawaana nnyo nga buwungedde abayaaye babeera bateeze okunyaga, okwo ssaako ku luguudo lw’eggaali y’omukka, we bayita mu kakoona, ne mu Kyondo nabyo bya mutawaana.

 Kansala w’omuluka guno ku munisipaali e Lubaga, Fred Luzze yagambye nti agezezzaako okuyamba abamu ku bamenyi b’amateeka ng’abafunira emirimu mu KCCA naddala egy’okwera enguudo nti era bangi batandise okulokola okuva mu bumenyi bw’amateeka.

Ku Stella e Najjananjkumbi ku kidda e Kabowa aba Kifeesi bateegerawo abantu ne babakuba emiggo n’okubanyagaAwalala we bayita mu Kasindigiri okumpi ne Kleziya ya St. Joseph mu Ndeeba. Elena Baguma ow’e Kabowa agamba yali ava okukola gye buvuddeko ababbi baamuteega ku Stella e Najjanankumbi ku kkubo eridda e Kabowa, ne bamukuba emiggo n’okutuusa kati apooca mu ddwaaliro e Nsambya n’ebiwundu eby’amaanyi.

Awalala e Najjanankumbi, kwe kuliraana essomero lya Waterford awayitibwa ‘Ku masannyalaze’ n’okumpi n’ekikubo kya wooteeri ya Durban. Ewa Dinia okuva ku muzikiti ne ku luguudo lwa Ssuuna Road mu budde bw’ekiro wabeera waabulabe nnyo, oluguudo luno lubi lujjudde ebinnya kale ebidduka biyitako kasoobo abayaaye bakozesa akakisa kano okunyaga abayitako ekiro. Mu zooni ya St. Anne waliwo akafo ke bayita Gardens.

Awalala emabega w’akatale k’e Wankulukuku, e Kitebi emmanju wa galagi ya Lubowa, ku muzikiti, ku kibira kya Simbwa, mu Soweto, e Kitebi, ewa Taata Jimmy e Wankulukuku ku kidda e Nyanama, emmanju w’eddwaaliro ly’e Kitebi, we bayita mu bakanaabe ku ligenda ku Kampala University e Mutundwe. Akulira poliisi ya Ndeeba Abdu Hamidu Kabojja yagambye nti obumenyi bw’amateeka bukendedde era bakyakola ebikwekweto.