Gwe baayitanga ‘Nababi-Kisodde’ bamukubye empeta n'alumya abateesi

By Musasi wa Bukedde

OMUWALA eyakulanga bamuyita ‘Nababi-Kisodde’, bamukubye empeta n’asekerera abaali bamuvuma.

Kisodde0 350x210

OMUWALA eyakulanga bamuyita ‘Nababi-Kisodde’, bamukubye empeta n’asekerera abaali bamuvuma.

Rovince Birimuye yagambye nti maama we yamugumyanga nti buli kintu Katonda y’amanyi lwaki yakitonda nga bwe kifaanana era kye yava yamutuuma ‘Birimuye’.

Birimuye eyaabadde yakagattibwa ne bba Wycliff Kahama yagambye nti, ku myaka 45 gy’alina yali tafunangako musajja amukwana ng’eyasoose era ye yamukubye empeta.

 Rovince Birimuye ng'ali ne Ssengawe

 irimuye ne bba ycliff ahama ku mbaga yaabwe Birimuye ne bba Wycliff Kahama ku mbaga yaabwe

 

 

 

Yagambye nti yazaalibwa alina obulemu kyokka abaana be yasomanga nabo nga bamuyita ‘Nababi Kisodde’.

Yakoma mu S1, ng’akooye okumuvuma amaanyi n’agamalira mu kuweereza Katonda. Omulabirizi wa West Buganda,

 

 azadde ba irimuye nga bali ku mukolo gwembaga ye Bazadde ba Birimuye nga bali ku mukolo gw'embaga ye

 

 bamu ku bagenyi abeetabye ku mukolo gwembaga ya irimuye ne bba ycliff ahama Abamu ku bagenyi abeetabye ku mukolo gw'embaga ya Birimuye ne bba Wycliff Kahama

 

Kefa Kamya ye yabagasse era Birimuye n’agamba nti kati afunye essanyu ery’olubeerera kubanga afunye omuntu amwagala era asazeewo okubeera naye okutuusa okufa.

MAAMA NE SSENGA BATTOTTODDE.

Embaga ya Birimuye kye kimu ku bintu bye twali tetusuubira mu bulamu bwaffe olwa muwala waffe okuzaalibwa ng’aliko obulemu ku mubiri gwe.

 bimu ku birabo ebyaweereddwa abagole Ebimu ku birabo ebyaweereddwa abagole

 

 irimuye ne bba ycliff ahama nga baloola Birimuye ne bba Wycliff Kahama nga baloola

Buli lwe yeeyongeranga okukula nga feesi eyongera okugongobala era bwe yaweza emyaka 15 n’ayonoonekera ddala.

Ku ssomero abaana baali baamukazaako lya Nababi -Kisodde olw’amaaso agaava mu kiwanga ne gadda ku ngulu.

 

 bagole nga basala keeki Abagole nga basala keeki. EBIFAANANYI BYONNA BYA FLORENCE TUMUPENDE

Nga tannagenda mu buweereza, yasooka kulima n’okulunda kyokka nga n’eno bamuvumirayo nti ‘akutuza ebisolo ku ttale’.

Ebya Katonda bizibu kuba baazaalibwa abaana abawala bana kyokka y’afunye omukisa okufumbirwa empeta.