MunnaDP Nakiwala azina gunteese: Bamuwadde bwaminisita w'abavubuka

By Ahmed Mukiibi

Eyali Minisita e Mmengo, Florence Nakiwala Kiyingi, ono nga yavuganyizza ku kifo ky’omubaka omukazi owa Kampala ku tikiti ya DP, naye Pulezidenti Museveni amuwadde ekifo n’akakasa oluvuuvuumo olubaddewo mu Bannakampala okumala akaseera.

Aaaaaabig70342216 350x210

BETI KAMYA, NAKIWALA, NADDULI BAZINA GUNTEESE

Mu ngeri eyeewunyisizza Bannayuganda, Pulezidenti alonze abantu ababadde batasuubirwa ku bwaminisita omuli n’ab’oludda oluvuganya.

Mu balondeddwa nga babadde tebasuubirwa ye, Beti Olive Namisango Kamya, pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Federal Alliance (UFA) era nga yaliko mu FDC ne Reform Agenda ng’assa kimu ne Dr. Kizza Besigye.

Omubaka wa Oyam South, Betty Amongi Ongom owa UPC era muka Jimmy Akena (mutabani wa Obote), naye Pulezidenti Museveni amugonnomoddeko obwaminisita mu ngeri eyeewuunyisa.

Eyali Minisita e Mmengo, Florence Nakiwala Kiyingi, ono nga yavuganyizza ku kifo ky’omubaka omukazi owa Kampala ku tikiti ya DP, naye Pulezidenti Museveni amuwadde ekifo n’akakasa oluvuuvuumo olubaddewo mu Bannakampala okumala akaseera.

Christopher Kibanzanga , yali Mmemba wa FDC lukulwe, kyokka n’asala eddiiro mu 2015 ne yeegatta ku NRM, naye alidde, Pulezidenti bw’amuwadde ekifo mu kabinenti.

Ono ye muto w’Omusinga Charles Wesley Mumbere. Lt. Gen Henry Tumukunde, eyawakanyaako Gavumenti n’atuuka n’okufiirwa ekifo kye mu Palamenti ng’omubaka wa UPDF mu2015, naye alondeddwa ku bwaminisita mu ngeri eyeewuunyisa.

Abadde ssentebe wa LC5 e Luweero, Haji Abdul Nadduli, naye Pulezidenti Museveni amukubagizza olw’okuwangulwa Ronald Ndawula e Luweero bw’amuwadde obwaminisita.

New Cabinet by The New Vision