Nalubega: okikola atya?: Jjajja wange yannyamba ku ntandikwa

By Musasi wa Bukedde

Maria Solome Nalubega 37, ow’e Munyonyo ye nnannyini Maria’s Collection edduuka eritunda gomesi n’engoye z’abakyala ku Kamu Kamu Plaza.

Oki 350x210

Maria Solome Nalubega 37, ow’e Munyonyo ye nnannyini Maria’s Collection edduuka eritunda gomesi n’engoye z’abakyala ku Kamu Kamu Plaza.

NASOMERA Namiryango Girls gye nnamalira P7. S4 ne S6 nagimalira ku St. Josephs Nsambya.

Okuva lwe natandika okusoma okutuuka S4 nali mbeera ne maama wange (mugenzi). Natandika okubeera ne ba ssenga bange era bwe nali mu luwummula lwa S4 jjajja wange Leticia Kikonyogo nahhamba tutandike okukola naye ku Hotel village ne tutunda naye eddagala ly’ebirime okumala emyaka 4.

Oluvannyuma natandika okupanga okugenda wabweru kubanga nali nfunyeewo ku kapito nga ne jjajja agenda kunnyongerezaako.

Nagenda e London ne ntandika okukola wabula tebyali byangu. Eno namalayo emyaka esatu jjajja nang'amba nkomewo e Uganda kubanga e London byali bigaanyi ate nga nkola nnyo naye nga nfuna kitono so nga n’okufuna obutuuze kyali kiremye.

Ssente ze nakolayo nasuubulamu engoye era bwe nakomawo e Uganda ne ntandika okuzitundira awaka nga sinnafuna dduuka olwa kapito okuba omutono. Wano wonna jjajja ye yannyambangako okunfunira ku baguzi kubanga yali amanyi abantu bangi. Bwe nafuna kapito, nafuna edduuka ku Zai Plaza naye nga mpangisa amasa abiri kwe nateekanga engoye zange.

Tebyahhendera bulungi kubanga engoye n’engatto bye nnali nsubula e London byali birungi naye ng’abantu baagala mbibaguze ku ssente ntono nga nze sifunamu. Namalawo emyaka esatu ne nfuna akaduuka akatono ku Kamu Kamu plaza.

Mikwano gyange e Londona gyayongera okumpeereza ebintu ne ntunda era ekiseera ne kituuka ne ntandika okugenda mu mawanga ag’enjawulo okwesuubulira.

Mu kusooka nalinga ntunda ngoye zokka na ngatto okutuusa bwe naweebwa amagezi okutandika okutunda gomesi kubanga abakyala baali batandise okuzettanira olw’emikolo.