Bannayuganda abaasimattuse amasasi e Sudan balulojja

By Musasi wa Bukedde

Micheal Angeng ow’e Kibuli afumba mmere e Juba baamuwadde ekitanda e Mulago: Bankubye essasi mu kugulu ne lifulumira mu kulala, twabadde tutambulira mu bbaasi ne tugivaamu.

Wbs 350x210

Micheal Angeng ow’e Kibuli afumba mmere e Juba baamuwadde ekitanda e Mulago: Bankubye essasi mu kugulu ne lifulumira mu kulala, twabadde tutambulira mu bbaasi ne tugivaamu.

Twalinnye akamotoka akatono kyokka twabadde tutuuka e Nimule, ne tusanga abaserikale nga basudde emisanvu kwe kutukubamu amasasi.

Baatandise okutunyagako bye twabadde nabyo era nze bantutteko obukadde busatu.

Essasi lyampise mu vviivi. Abamu ku be twabadde nabo baafudde, mmotoka mwe baabadde bwe baagikubye omupiira kyokka ddereeva n’agivugirawo okutuuka ku kalwaliro ne tufuna obujjanjabi.

Oluvannyuma nalinnye bbaasi eyantuusizza e Kampala ne bantwala e Mulago.

Paul Waswa Walusimbi yategeezezza Bukedde nti okuva olutalo bwe lwatandise ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, Bannayuganda bayisiddwa bubi nnyo. Lydia Kisaakye 25 w’e Kawempe (acaajinga masimu e Juba):

Abasajja baabadde bakambwe nga tebaagala kukuwulira ng’oyogera ku ssimu. Twasazeewo okwekweka ne tutuuka okubulwa ekyokulya.

Buli kintu kyabadde ku buseere ate ng’ebisinga baabbibye.