Aba FDC batonzeewo ekibiina okulondoola ebyenfuna by'eggwanga

By Scovia Babirye

ABA FDC bayise olukiiko lw'abakulembeze ne batondawo ekibiina bukubirire okuteesa ku kye bayise akatuubagiro k'ebyenfuna mu ggwanga n'engeri gye bayinza okukasalira amagezi.

Laga 350x210

ABA FDC bayise olukiiko lw'abakulembeze ne batondawo ekibiina bukubirire okuteesa ku kye bayise akatuubagiro k'ebyenfuna mu ggwanga n'engeri gye bayinza okukasalira amagezi.

Bino byogeddwa omwogezi w'ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda bw'abadde mu lukiiko ne bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi leero ku Mmande n'ategeeza nti bo ng'ekibiina balowooza okulonda okwakaggwa kwe kuleese akatyabaga k'ebyenfuna mu ggwanga ekireetedde abagagga okulaajanira gavumenti ebayambe.

Ayongeddeko nti olutuula luno lugendereddwaamu okutaasa eggwanga obutasaanawo kuba ssente zaasasaanyizibwa nnyingi mu kulonda era n'akkaatiriza nti ssente z'eggwanga zetaaga kuteeka mu kulima na makolero kuba awo omuntu wa wansi w'asinga okufunamu.