Goberera bino ng’ozimba ennyumba oleme kubbibwa ssente

By Kizito Musoke

OMUNTU akola ensimbi nga bw’aziweereza banne bamuyambe okumuzimbira amaka amalungi, ennyumba z’abapangisa n’oluusi okukola bizinensi agende okudda nga tadda mu kubonaabona.

Lira 350x210

OMUNTU akola ensimbi nga bw’aziweereza banne bamuyambe okumuzimbira amaka amalungi, ennyumba z’abapangisa n’oluusi okukola bizinensi agende okudda nga tadda mu kubonaabona.

Kyokka bangi bagenda okuva ku kyeyo gye babadde bakolera mu bugubi, obutiti n’obutawummula nga we yali asuubira okusanga ennyumba y’ekirooto kye nga waliwo nsiko oba oluusi ntuumu ya bbulooka n’omusenyu.

Bwe baba baakuyamba nga baazimbawo akayumba akatonotono olwo omusimbi ogusigadde ne bagulya. Abamu bafundikidde bakyaye ab’eηηanda n’emikwano abalala ne beekola ekikyamu nga bawoza nti tebakyalina mugaso ku nsi abantu be beesiga bwe baba baabalyamu olukwe ne bababba.

OMUKUGU AKUWADDE BY’OLINA OKUSSAAKO ESSIRA

 Ying. Vincent Xavier Katende owa Treasure Invests, Consultants and Contractors Limited agamba nti azimba ng’ali ku kyeyo alina okufuna omuntu omukugu mu by’okuzimba n’amukwasa obuvunaanyizibwa.

Ayinza okubeera yinginiya oba nga tali, kyokka ng’amanyi eby’okuzimba.

 Ateekwa okuba ng’ategeera eby’okugula ettaka, okulipima n’okusasula poloti bw’oba toliiwo kyokka ng’endagaano erina kubeera mu mannya go obutakwefuulira.

 Omuntu ow’ekika kino olina okumussaako abantu abalala abakubuulira ekigenda mu maaso ng’era buli omu tamanyi munne. Bwe beemanya bayinza okukwatagana ne bakubba. Bw’olaba nga bakuwa amawulire agatakwatagana ng’omanya nti waliwo ekikyamu.

 Yategeezezza nti mu kiseera kino waliwo kkampuni n’abantu ssekinnoomu abakola obulungi omulimu guno. Kyokka bano mulina okusooka okussa omukono ku ndagaano ne mukkaanya ku by’okukuzimbira ennyumba yo nga mulimu bannamateeka ate nga ne kkampuni yeewandiisa mu mateeka.

 Ying. Katende agamba nti tekyandibadde kirungi kulowooza nti wa luganda yekka gw’olina okukozesa kuba nabo bayiye bangi. Abamu olw’okuba tebabeera na bukugu, beesanga bakoze ensobi ezitali ηηenderere, ssente ne zibafaako ate abalala ne bazirya mu bugenderevu. Ssinga obeera ofunye owooluganda oba mukwano gwo, olina okuba ng’omwesiga ng’ate wa buvunaanyizibwa atajja kubuzaabuza ssente zo.

 Olina okumusasula omusaala kubanga okuzimba kutwala obudde era omuntu tasobola kukola bintu birala bw’oba oyagala ekintu ekirungi. Bw’otamusasula ajja kukukubako enjawulo era bw’aba talina bukugu, ayinza okukutomeza.

 Waliwo owooluganda eyasaba mukulu we ali ku kyeyo e Bungereza obukadde 100 amuzimbire kkalina. Baagenda okubalirira oluvannyuma ng’ennyumba yeetaaga obukadde 250 era muganda we yalowooza nti baamubba ekitaali kituufu.

 Ennyumba bw’ebeera ewedde okuzimba, funa kkampuni ekusolooleza ssente. Mulina okukkaanya ku mutemwa gwe balina okukuggyako, ssente we baziteeka, ez’okulabirira ennyumba n’ebirala. Ebintu ebinene, ng’okuzza ennyumba ku mulembe byandibadde bikolebwa wooli.

 Olw’okuba obeera bunnaayira ebyokwerinda osaanidde obiteekeko essira. Kino kijja kukuumira abapangisa ku nnyumba yo ate naawe ebintu by’omuwendo bye waleka obisange. Ennyumba bw’eba yaakusulamu wandibadde ogirekamu omuntu agikuuma kyokka ng’omwesiga.

 Ebintu nga kkamera eziketta, obude ne waya ezikwata ababbi kirungi okubyettanira.

 Katende awa abantu amagezi abali ku kyeyo nti ne bw’oba ozimbye nnyumba y’amaka, gipangise kikuyambe okwongera ku nnyingiza yo. Ekiseera ky’omala nga toliiwo w’okomerawo osobola okubeera ng’okuηηaanyizza ssente ezizimba ennyumba endala.