Ow'emyaka 70 aleppuka na gwa kusobya ku muzzukulu we

By Musasi wa Bukedde

POLIISI e Kiruhura ekutte musajjamukulu James Warimi, 70, ow’e Rurambira mu ggombolola y’e Nyakashashara.

Saja 350x210

POLIISI e Kiruhura ekutte musajjamukulu James Warimi, 70, ow’e Rurambira mu ggombolola y’e Nyakashashara.

Kiteeberezebwa nti bulijjo asobya ku muzzukulu we ow’emyaka omukaaga. Kigambibwa nti omwana ye yaloopye jjajja we eri nnyina.

Akulira poliisi ya Kaguta Road, Peter Oyeszigire, yagambye nti omusango bagunoonyerezaako.