Leero mu Okikola otya: Rose Atwine okukola ssigiri ezikozesa amaanyi g’enjuba kumuliisa nga muloodi

By Musasi wa Bukedde

Rose Twine 40, ye nannyini kkapuni ekola ssigiri ezikozesa amaanyi g’enjuba eya Eco Stove e Wakaliga mu Kampala era ng’alina amatabi mu bitundu eby’enjawulo.

Li 350x210

Rose Twine 40, ye nannyini kkapuni ekola ssigiri ezikozesa amaanyi g’enjuba eya Eco Stove e Wakaliga mu Kampala era ng’alina amatabi mu bitundu eby’enjawulo.

Alaga ng’omukyala bwasobodde okuyimirizaawo kkampuni eno wakati mu kuvuganya. Ndi mutuuze w’e Kabojja mu zooni ya Kabojja Hill.

Okutandika bizinensi eno kyali kirooto kye nali mbuusabuusa oba kiyinza okutuukirira. Twazaalibwa abaana 25 era embeera teyali nyangu wadde taata eyali omukozi wa Gavumenti ate nga mulimi yasobola okutuweerera.

Pulayimale nagisomera Rukungiri, siniya eyookuna nagimalira Uganda Martyrs Namugongo ate eyoomukaaga ku Progressive S.S e Bweyogerere mu 1995. Mu 1995 nga tegunnaggwaako, taata yansindika e Bungereza nsome obusawo bw’obuzaalisa mu City University, London.

Kye nzijukira twasomanga tusasulwa omusaala era eno ye yali entadikwa yange kuba buli ssente ze nafunanga nga nterekako kuba nalina essuubi okudda mu Uganda ntandike okwekozesa.

Wabula nalaba ng’obusawo tekwali kuyitibwa kwange, era bwe namaliriza okubusoma ne nsalawo okusoma obusomesa mu ACA Institute e London.

Nga mmalirizza nafuna omulimu mu kitongole kya London Borough of Harimgey (wano mu Uganda kye wandiyise KCCA nga) nga kikola ku kasasiro, era eno gye nafunira ekirooto eky’okukola ssigiri okukendeeza ku kusala emiti mu Uganda.

Nga sinakomawo mu Uganda, nasooka ne noonyereza okuzuula ebizibu abantu baffe bye basanga era nalina okusooka okusoma dipuloma mu kunoonyereza ku mbeera eno.

Olwo kkampuni ne ngitandika mu 2010, wabula bizinensi yange teriimu ssente za looni kuba kye nali ηηenda okukola nali nkyetegekedde.

Saasooka kulowooza ku kifo we nnaakolera era natandikira mu maka gange okumala emyaka ebiri, abantu bwe baategeera omulamwa gw’ebintu bye nkola nga ne bizinensi egaziye ng’awaka sigyawo kwe kusalawo okufuna ekifo buli muntu w’asobola okunsanga.

Bizinensi ezze ekula mpola okutuusa weetuuse wano olwaleero. Wabula okubeera wakati mu kuvuganya si kyangu nga weetaaga okuyiiya buli lukya, era essigiri gye nasooka okukola nagikyusaamu okwongera ku mutindo.

Bye ngoberera 1 Obwesigwa: Bw’obeera omwesimbu ate ng’okola bulungi n’abantu beeyongera okukukkiririzaamu ne bakunywererako n’okukufunira bakasitoma abalala.

2 Obumalirivu n’obuvumu: Abantu abamu batya okutandika bizinensi nga zino ezeetaaga okuyiiya, amagezi n’amaanyi okusobola okufunamu.

3 Obutalowooza kisusse ku ssente z’ogenda okufunamu: Buli muntu ayagala okufuna mu kintu ky’otaddemu amaanyi sooka olowooze ku bizinensi gy’eraga nga tonnalowooza ku ssente z’ogenda kufunamu.

4 Okwenyigira mu mirimu: Buli nannyini bizinensi alekera abakozi nga ye tamanyi na ntambuza yaayo n’alinda ssente akola kikyamu. Nze nneenyigira mu buli kyetaagisa okukola essigiri okusobola okumanya bizinensi yange.

5 Okukola obuteemalira: Kino nkikola nga buli kiseera mu bizinensi nyongeramu ebipya n’okwongera okunoonyereza okusobola okumanya ekirungi n’ekitali.

6 Okukolera awamu n’abakozi n’okubakolako omukwano ogubaako we gukoma kikuyambe okumanya ebiri mu bizinensi by’oba tomanyi.