Ab'e Nateete abazigu bababbyeeko mmotoka

POLIISI y’e Nateete eyigga abazigu abaalumbye abatuuze mu Lubaga ne banyaga emmotoka mu bikomera.

 Kavije ne Katamba ababbiddwaako mmotoka. EBIF: ALI KIZZA

POLIISI y’e Nateete eyigga abazigu abaalumbye abatuuze mu Lubaga ne banyaga emmotoka mu bikomera.

Byabaddewo mu kiro ky’Olwokutaano ku byalo omuli Wakaliga ne Busega.

Baalumbye amaka ga Muky. Viola Kavije omusuubuzi mu Kampala ne batwala mmotoka y'ekika kya Mark 2 Progress nnamba UAT 900D.

Ate Charles Katamba ow’e Busega baamubbyeko takisi nnamba UAX 230C.

Yagguddewo omusango ku fayiro: 73/01/09/2016 ate ogwa Muky. Kavije guli ku fayiro REF: 20/2/09/2019.